TOP

Dr. Kaggwa eyali akulira Mulago afudde

Added 10th November 2017

EYALI akulira eddwaliro ly’e Mulago Dr. Lawrence Kaggwa,68, afiiridde mu ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw’okutawanyizibwa obulwadde bw’omutima okumala akabanga.

 Omugenzi Dr. Kaggwa

Omugenzi Dr. Kaggwa

Bya Muwanga Kakooza

EYALI akulira eddwaliro ly’e Mulago Dr. Lawrence Kaggwa,68, afiiridde mu ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw’okutawanyizibwa obulwadde bw’omutima okumala akabanga.

            Ensonda mu ddwaliro e Mulago zitegeezezza nti afudde ku ssaawa nga 3:00 (ssatu) ez’okumakya leero ku Lwokutaano.  Abadde mu ddwaliro ly’omutima erya ‘Uganda Heart Insitute’ e Mulago  gye yatwalibwa October 16, 2017.

            Dr. Kaggwa yatandika okukulira Mulago mu 1993 era n’abeerayo okumala emyaka 13 okutuusa mu 2005 lwe yakyusibwa n’afuuka dayirekita w’okuteekateeka mu  minisitule y’ebyobulamu.

            Yazaalibwa 1948 ku kyalo Kiryasaaka e Masaka. Yazaalibwa omwami Dominic Njala ne Muky. Dorotia Nalubwama. Era yasomera Buyoga Primary School, Bukalasa Seminary, St. Henry Kitovu, St. Mary’s Kisubi n’oluvannyuma n’egenda e Makerere my 1969 okusoma obusawo n’afuna diguli mu 1974.

            Yakolerako mu ddwaliro e Kitagata n’akulira eby’obulamu e Bushenyi mu Ankole. Yakolerako e Bugiri era n’asomesaako eby’okulongoosa abantu. Yalina eddwaliro ly’obwanannyini ku Wilson road erya ‘Allied Medical Consultant’.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...