
Bya Phiona Nannyomo
Enkwe,olugambo n'entalo ebifumbekedde mu kibiina kya NRM e Masaka byeraliikirizza abakulembeze b'ekibiina kwekusalawo okuyita olukng'aana lw'ekibiina bukubirire okusobola okungonjoola ensonga.
Peter ssenkungu nga ono ye ssentebe w'ekibiina agamba nti bannakibiina bangi naye tebakoze kimala kusagula kalulu ka bannakibiina bannaabwe abesimbyewo ku bukiiko bw'ebyalo kyokka ate ne bawagira aba DP ne FDC.
Ssenkungu agamba nti ne kumulundi guno bandiviraamu awo ng'yokya omusota ne bawangulwa aba DP nga bwekyali mu kulonda kw'omwaka oguwedde.
Asabye bannakibiina okuzza entalo ku bbali bannonyeze bannakibiina akalulu era balwane bwezizingirire okulaba nga bawangula.
Bino bibadde mu lukiiko lwa ba NRM olutudde ku Royal Gardens mu kibuga Masaka era nga bannakibiina mwebasimbidde nakakongo nga bagaala amyuka meeya w'ekibuga Masaka Sarah Nakyanzi okwabulira ekibiina nga bamulumiriza okuwagira aba DP n'alwanyisa aba NRM