TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'obufuzi mu by'abyawule ku kyambalo kya mukama-Msgr Silverus Jjumba

Eby'obufuzi mu by'abyawule ku kyambalo kya mukama-Msgr Silverus Jjumba

Added 12th November 2017

Eby'obufuzi mu by'abyawule ku kyambalo kya mukama-Msgr Silverus Jjumba

Bya Florence Tumupende

VICA General w'essaza ly'e Masaka Msgr Silverus Jjumba alabudde bannabyabufuzi okuggya bannaddiini mu nsonga z'eby'obufuzi ezitandise okubawebuula buli gye bayita.

"Mukimanye bulungi nti eddiini y'abakatuliki ba faaza tulina olugoyo olumyufu lwetwambala mu budde bwalwo naye kyennyamiza okuwulira bannabyabufuzi okulinnya obudaala ne batandika okwogera nti ba faaza babegaseeko okulwanyisa ennyingo ya 102B obutagikwatako.

Tubasaba mukole Pulezidenti Museveni bye yabatuma okukola nga mwebuuza ku balonzi mu kifo ky'okutukuba amaggi amavundu.

 

Faaza bwaba avudeyo nti tayagala ssemateeka akwatibweko kifuusa
 ekyambalo kyaffe ekimyufu ekyokwekalakasizaamu ?. Msgr Fr Jjumba bwategeezeza.

Msgr Jjumba okwogera bino asinzidde mu kuyimba missa ku kigo kya St Peter Apostle ekisangibwa mu ggombolola y'e Malongo mu disitulikiti y'e Lwengo kwaweredde abaana 224 e Sakramentu lya Konfrimansio.

Msgr.Fr. Jjumba mungeri y'emu yennyamidde olw'abazadde abasuulideyo ogwannagamba  mu kukuliza abaana babwe mu ddiini ekivudeko abaana ebikolwa omuli obwenzi,obubbi n'obutemu okweyongera mu ggwanga.

Ye bwanamukulu w'ekigo kino Fr.Richard Ntambaazi alaze okutya kungeri abakirisitu gye bagufudde omuze gw'okusoma emikolo n'ennaku enkulu ky'agambye nti kyekivuddeko katonda okwekyawa nattonyesa enkuba embi mu Lwengo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....