TOP

Ebbula ly'amazzi lisattiza ab'e Kawempe

Added 13th November 2017

W’osomera bino mu bitundu ebimu ekidomola kati kigula wakati 1,500/- ne 2,000/- .

 Omuvubuka ng'asena amazzi mu mwala e Makerere, Kivvulu. Ekif: kya Moses Lemisa

Omuvubuka ng'asena amazzi mu mwala e Makerere, Kivvulu. Ekif: kya Moses Lemisa

EBBULA ly’amazzi litabudde abatuuze mu Ggomboolola y’e Kawempe, balajjanidde ab’ekitongole ky’amazzi okusituukiramu bakole ku kizibu kino ekibasuza nga tebeebase.

W’osomera bino mu bitundu ebimu ekidomola kati kigula wakati 1,500/- ne 2,000/- .

Abatuuze bagamba obuzibu buno buvudde ku nkuba efudemba ennaku zino eviriddeko emiddumu gy’amazzi mu bitundu ebimu okwabika nga kati gafuuse ga kusimbira nnyiriri.

Abatuuze abamu eby’okusimba ennyiriri babivvuddeko, amazzi baasena mu myala.

Paul Kibuuka akulira eby’okwerinda mu muluka gwa Makerere iii agamba nti  singa ekitongole ky’amazzi tekivaayo mubwangu ku kizibu kino ng’okuddabiriza emiddumu egyayabika, embeera eno yandivirako abantu okufuna endwadde olw’okunywa amazzi amakyafu.


Jane Nampijja omu ku batuuze  agamba okufuna amazzi olina kuzuukuka ku ssaawa 9:00am mu kiro nga abantu ebanba kuweera ku samba nnyiriri.


omu ku ba offiisa abakola mu offiisi y’amazzi e Bwaise atayagadde kumwatuukiriza mannya agamba nti ekizibu kino kikolebwako era essaawa yonna abatuuze bagenda kufuna emirembe era bano abasabye okuba abagumikiriza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...

Trump asimattuse omukazi ey...

AB'EGYE erikuuma Pulezidenti wa Amerika singa tebaatebuse mukazi eyabadde ateze Pulezidenti Donald Trump obutwa...

Kazimba ng’agenze okulambula e Makerere.

Ofiisa wa poliisi akwatiddw...

OFIISI wa poliisi n’omukuumi w’ekitongole ky’obwannannyini bakwatiddwa ku by’omuliro gw’e Makerere.

Chameleone (ku ddyo) yali ne Bobi Wine.

Chameleone yeekokkola aba B...

ABASUNSULA akamyufu mu kibiina kya NUP ekya Bobi Wine basudde Jose Chameleone okwesimbawo ku kya Loodi Meeya wa...

Akulira ebyenjigiriza e Kalungu, Mukasa Bbaale.

Abazadde batidde ffiizi n'e...

Abazadde basanyukidde okuggulawo amasomero kyokka abamu ne balaga okutya gye banaggya ffiizi kubanga bangi emirimu...