
Bryan White ng'ali mu bayizi b'essomero lya Migamba SSS eriangibwa e Kyegegwa
ABAKYALA mu ddwaaliro ly’e Mubende okuli ab’embuto ne bannakawere babugaanye essanyu omugagga, Bryan White (Bryan Kirumira)bw'abakyaliddeko mu ddwaaliro n'abawa ebintu omuli ebyeyambisibwa mu kuzaala( maama Kits), obutimba bwe nsiri, ensawo n’ebirala.
Ate bbo abasawo ababajjanjaba abawadde ebintu omuli emmere, ssukaali, butto n’ebiraala mu kye yayise okubasiima olw’omulimu omulungi gwe bakola.
Nga tannatuuka ku ddwaaliro eggulo(ku Lwokubiri) yasookedde ku Glory-land village ekifo awakumirwa n’okusomesa abaana abatalina mwasirizi beyagabidde ebintu ebiwerako ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo omwabadde; ensawo z’omuceere n’akawunga, bokisi za ssabbuuni ne Butto, pad z’abawala, omunnyo, ssente enkalu n’ebirala.
Wakati mu ssanyu abaana bamusabidde essaala ey’omukisa olw’omukwano gw’abalaze era ne basaba n’abantu abalala abalina obusoobozi okubadduukilira kubanga balina obwetaavu bungi.
Oluvannyuma Bryan yeyongeddeyo mu Disitulikiti y’e Kyegegwa ku ssomero lya Migamba SSS eryalabikira ku mukutu gwa TV ogumu nga abaana ob’obuwala bagabana pad ze bakozesa beyagabidde pad gye yayogeddeko ng’ensonga enkulu eyamutuuteyo kuno yabagattiddeko ensawo za ssuukali n’akawunga, bokisi za ssabbuni, butto n’ebirala.
Bryan agamba okugaba obuyambi akikola okutuukiriza ekimu ku bigendererwa bye eby’okuyamba abantu abali mu bwetaavu era wano weyasinzidde okukubira Gavumenti omulanga erowooze ku bantu abali mu bwetaavu n’abo abakola ennyo naddaala abakozi ba Gavumenti kyokka nga bafuna kitono.
Ate ye omumyuka wa RDC ow’e Mubende Evelyn Kizza Tinkamalirwe eyabadde ne D.S.O abasoose okwagala okulemesa Bryan okugaba obuyambi mu ddwaaliro nga bwe bamukazaakaza n’okumulagira yennyonyoleko n’ebigendererwa bye oluvannyuma wabula oluvannyu baasanyukidde omulimu ogw'akoleddwa Bryan era ono yamusiimye okubeera n’omutima omugabi, okulowooza n’okwagala ennyo bannakazadde b’eggwanga.
Ate ye Moses Tinslew Waswa omu ku bakulira Glory-land village yategeezezza nga bwe balina ebyetaago ebiwerako era ono yakowoodde Gavumenti n’abantu ssekinnoomu okubakyalirako era babaddukirire.