TOP

Bwiino lwaki Kasingye yagobeddwa azuuse

Added 15th November 2017

KASINGYE nga tebannamuggya ku kifo ky’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, baamubuuzizza ekibuuzo: Mu ttiimu gy’obadde okola nayo, ani gwe yandyagadde akuddire mu bigere? Boofiisa beewuunyizza bwe yayanjudde erinnya limu lyokka – SSP Emilian Kayima!

 Kasingye ne Kayima

Kasingye ne Kayima

Baamubuuzizza ensonga n’abategeeza nti tewali nsonga ndala yonna okuggyako obusobozi.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti AIGP Asan Kasingye yannyonnyodde Badayirekita banne nti wadde eddaala Kayima kw’ali liri wansi kyokka asobola okwang'anga omuliro oguli mu kifo ekyo mu ngeri ematiza.

Mu ddaala, Kayima ali wansi wa ACP Polly Namaye (abadde amyuka Kasingye) era ali wansi (amadaala abiri) kaminsona CP Fred Enanga akyabalirwa mu kitongole kye kimu eky’obwogezi bwa poliisi.

Wano abeewuunyizza erinnya lya Kayima we baasinzidde nga beebuuza bw’anaakulira ekitongole ekirimu abamusinza amayinja (soma ccepe)!

ENGERI KASINGYE GYE BAAMUGGYE MU KIFO

Ekifo ky’obwogezi Kasingye yasooka kukisanyukira wabula kyatandika okumukaayira mu May nga yaakakimalako omwezi gumu n’ekitundu.

Okwogera ku baserikale abaatulugunya ssentebe wa Kamwenge Town Council, Geoffrey Byamukama we yasinga okusanga obuzibu era omu ku boofiisa ba poliisi yategeezezza Bukedde nti Kasingye yeecangira mu lumu ku nkiiko ze baalimu; ng’anenya abakulira ebitongole ebikola ebikwekweto okumala okukola ‘amanyanga’ ate ne basuubira ekitongole ekyogezi okwogerera ebikolobero ebyo, ekifaananyi kya poliisi kireme kukosebwa.

Mu lukiiko lwe baalimu oluyitibwa Police Advisory Committee (PAC), Kasingye nti yalabula nga bwe yali agenda okulekulira ekifo ky’obwogezi bwa poliisi ssinga ensobi ez’ekika ekyo zigenda mu maaso.

Mu October ne November omwaka guno, Kasingye mw’asinze okusoomoozebwa era n’asalawo oba ekifo kimufa kimufe naye nga tekigenze na linnya lye!

Okukozesa eryanyi mu kukwata abawakanya ebbago ly’ekkomo ku myaka bwe kwatandika, Kasingye yasalawo asigale ng’anenya abapoliisi abakozesa eryanyi erisusse mu nkung'aana.

Ekyamala eggobe mu kibya, be baserikale ba Flying Squad nga baduumirwa ACP Francis Olugu okukola ekikwekweto e Mbarara ne bateeka abawagizi ba FDC mu bbuutu ya Noah wabula bakama be nga baagala Kasingye alage nti abantu wadde baabayisizza mabega wa mmotoka, naye tebaabatadde mu bbuutu.

Bwe kyatuuse ku magye okukwata abaserikale ba poliisi okuli Nixon Agasirwe, Joel Aguma n’abalala musanvu ne gujabagira.

Kasingye yasigadde alaga nti amagye gaatuuse okutwala boofiisa ba poliisi mu kkooti yaago, nga poliisi terina ky’emanyi.

Kigambibwa nti kino kyanyiizizza abamu ku bali mu byokwerinda nga bakiraba ng’ekitegeeza nti waliwo olukonko wakati w’amagye ne poliisi.

Kaamulali yabalagadde mu bbwa, abasajja abaabadde mu ngoye eza bulijjo abaabadde ne piisito, okuddamu okukwata Ahmed Ssenfuka ne banne abavunaanibwa ogw’okutta Kaweesi nga baakayimbulwa ku kkooti e Nakawa wiiki ewedde.

Engeri embi gye baakwatiddwaamu Ssenfuka n’atuuka n’okwambulwa yavumiriddwa nnyo, kyokka Kasingye bwe yabuuziddwa ku baakutte abantu abo; n’ayogera kaati nti: Abo tetubamanyi, si ba poliisi.

Ekyaddiridde kwe kukoonagana n’omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa eyasinziira ku leediyo n’agamba nti ekikwekweto ekyo baakimanyaako era babadde bawuliziganya n’ebitongole ebikuumaddembe mu kukituukiriza.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti akazito ku Kasingye keeyongedde era ne Emilian Kayima eyabadde ayogedde ebigambo bye bimu ebiraga nti abaakutte tebabamanyi ne kamutuukako.

Kyokka Kayima yabadde n’ekyokwewozaako kimu nti: Mukama wange kye yantegeezezza, nange kye mbadde nnina okutegeeza buli ambuuza.

Ekyaddiridde kiwandiiko ekiriko omukono gw’omuduumizi wa poliisi, Gen. Kale Kayihura nga kirambika nga bw’asazeewo okwawula ebitongole bibiri: eky’omwogezi kisigale kyokka nga kyawuddwa ku nkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo n’okulung'amya ebyobufuzi.

Ebifo bino byombi bibadde wansi wa Kasingye wabula kati yasigadde ku kimu; olwo Kayima n’aweebwa eky’obwogezi.

Obwogezi bwa poliisi kye kimu ku bifo bye bakoleramu ennyo enkyukakyuka era Kayihura mu kukissaamu omugenzi Andrew Felix Kaweesi mu August 2016, yali ayagala omuntu ali ku ddaala erya waggulu asobola okwogera ku buli nsonga nga tasoose kwebuuza ku muduumizi wa poliisi.

Okumutemula Kaweesi nga March 17, 2017 kyalekawo eddibu ne kirowoozebwa nti bwe banaaleeta omuntu ali ku ddaala lye limu, y’anaasobola wabula kibadde kikyagaanyi okukola; kwe kuleeta Kayima abulayo amadaala ana okutuuka ku AIGP.

Kasingye yagambye nti omulimu gw’obwogezi gubadde gwetaaga obudde bungi ate ng’alina ne ofiisi endala ey’enkolagana n’omuntu waabulijjo era enkyukakyuka zigenda kumuwa omukisa okwemalira ku mirimu gy’okusomesa aba poliisi ku byobufuzi ebizimba eggwanga n’enkolagana yaabwe n’omuntu waabulijjo nga bwe yalagiddwa bakama be.

EBYAYAMBYE KAYIMA OKULYA EKIFO

  • Obusobozi bw’alaze ng’ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano ate nga we wasinga ‘omuliro’ wamu n’obujagujagu mu nkwata y’ensonga naddala ezirimu ebyobufuzi.
  • Obujjumbize bw’akozesa okwogerera poliisi ku leediyo n’ebifo ebirala w’aba ayitiddwa.
  • Obujjumbize mu kuwandiika ensonga ezikwata ku poliisi mu mpapula z’amawulire ne ku mikutu gya yintaneti okuli WhatApp, Facebook n’emirala.
  • Obusobozi mu kunnyonnyola mu nnimi ez’enjawulo naddala Oluganda n’Olungereza eziwulirwa abantu abangi mu Uganda.

EBIKWATA KU KAYIMA

  • Mu 2015 Gen. Kayihura yamulonda okubeera omwogezi wa poliisi mu Kampala.
  • Gen Kayihura yatondawo ekitongole ekikola ku nsonga z'ettaka nga ofiisi enkulu ziri Kibuli era Kayima n’asindikibwayo okubeera omwogezi waakyo.
  • Okufaafananako n’omugenzi Kaweesi, bamuzaala Lwengo era baasomerako wamu mu St. Bernard S.S Kisowera. Kitaawe ye Alphonsi Ngoboka.
  • Yafuna diguli mu busomesa wabula mu 2004 yaleka obusomesa n’ayingira poliisi. Yayingirira kumu ne Judith Nabakooba, Ibin Ssenkumbi ne Moses Kafeero akulira ettendekero lya poliisi e Bwebajja.
  • Mu 2012 yalondebwa okubeera omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu ggwanga wabula mu kiseera kitono n’azzibwayo okwogerera ekitongole ky'ettaka n'okumyuka akikulira.
  • Muwandiisi era mu 2016 yawandiika ekitabo ‘Taasa Ettaka Lyo.’ Enkyukakyuka ezaakoleddwa eggulo zaakutte n’abalala 15.

SSP Andrew Kaggwa ng'ono yavunaanibwako mu kkooti ya poliisi olw’okukuba abwagizi ba Besigye yasindikiddwa mu kitongole kya poliisi ekkakkanya obujagalalo.

SSP Peter Nkulega yasindikiddwa Rwenzori West nga RPC, SP Bashir Ssempala yafuuliddwa amyuka omuduumuzi wa poliisi mu Kampala South.

SP James Kawalya yasindikiddwa kuduumira poliisi e Kyenjojo, SP Alex Wabwire yasindikiddwa okuduumira poliisi e Buikwe, SP Diana Namisango yasindikiddwa okuduumira poliisi e Mpigi.

SP Christopher Ruhunde yafuuliddwa omuduumuzi wa poliisi e Njeru ate SP Charles Mugisa kati y’aduumira poliisi e Kumi n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...