TOP

Robert Mugabe y'ani eyawambiddwa?

Added 16th November 2017

Amannya ge ye Robert Gabriel Mugabe kyokka babadde baamukazaako “Uncle Bob” • Yazaalibwa February 21, 1924 (alina emyaka 93). Bamuzaala ku kyalo Kutama mu Zimbabwe.

 Mugabe

Mugabe

• Ye pulezidenti asinga mu nsi yonna obuyivu ng’alina ddiguli musanvu ensomerere ne ddiguli ezisukka mu 50 ezaamuweebwa obuweebwa.

• Diguli ttaano ku musanvu z’alina yazisomera mu kkomera gye yamala emyaka 10 nga musibe.

• Wakati wa 1955–1960, yali musomesa mu Zambia ne Ghana nga tannayingira byabufuzi. • Yayingira ebyobufuzi mu 1960 bwe yeesogga ekibiina ekya Zimbabwe African National Union (ZANU-PF).

• Yakwatibwa mu1964 n’aggalirwa gavumenti y’Abazungu abaali bakulembera Zimbabwe ng’ekyayitibwa Rhodesia.

• Mu kkomera yamalamu emyaka 10 n’ayimbulwa mu 1974.

• Ng’ayimbuddwa mu kkomera, Mugabe yalondebwa okubeera omukulembeze bwa ZANU-PF mu 1974.

• Yali omu ku bakulembeze ab’ekibiina ky’obuyeekera nga bannansi ba Zimbabwe balwanyisa abafuzi b’amatwale okutuuka lwe baamegga Abangereza mu 1980 Zimbabwe n’efuna obwetwaze

• Mu 1980 yasooka kulondebwa okubeera Katikkiro wa Zimbabwe okutuuka mu 1987, Konsitityusoni ya Zimbabwe lwe yakyusibwa Mugabe n’adda mu bigere bya Canaan Sodindo Banana eyasooka okubeera Pulezidenti wa Zimbabwe okuva mu April 1980.

• Mukazi we ye Grace Mugabe yasooka kubeera muwandiisi wa Mugabe era ne basiimagana wadde nga Mugabe abadde amusing emyaka 41.

• Mugabe ne Grace balina abaana basatu; Bona, Robert Peter ne Bellarmine Chatunga.

• Mugabe yasooka kuwasa Sally Hayfron enzaalwa y’e Ghana era baazaala omwana omu Nhamodzenyika, wabula omwana oyo yafa yaakazaalibwa era baamuziika Ghana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...