
Ssentebe w’eggombolola ya Lwengo Rural, Joseph Lubega Bazonoona
Ssentebe w’eggombolola ya Lwengo Rural, Joseph Lubega Bazonoona yagambye nti abakulembeze babadde basanyufu nti ennaku enkulu zinaagenda okutuuka nga balonze LC, kiyambe okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obutera okubaawo mu kiseera kino.
Bazonoona yagambye nti balina ebyalo 456, mu disitulikiti eno nga bassentebe abamu baafa ng’abaliwo tebaalondebwa bantu nga kirabika kye kivuddeko obubbi n’obumenyi bw’amateeka okweyongera.
Kansala Abuduh Kabugo akiikirira eggombolola y’e Ndagwe yasabye Gavumenti n’akakiiko k’ebyokulonda ensonga y’okulonda LC ekwatibwe n’obwegendereza kuba be bayamba okukuuma obutebenkevu mu bitundu.
N’agamba ti Gavumenti bw’eba terina ssente za kugula bukonge bawe abantu ebbeetu okwegulira ebitabo mwe baba bakuula empapula bawandiikeko amannya g’abantu be balonze okusinga okusimba ennyiriri.
Hajji Jamil Kiyira wa LC 2 mu Buluhane Zooni e Kinono yagambye Gavumenti ennaku ze yayongeddeyo zireme kufuula myaka kuba abeefuula nti balumirirwa abayizi tebamanyi bizibu biri ku byalo ebitalina LC. Murisid Kafuuma, yagambye nti kkooti teyanditunuulidde abo bokka abaalopye wabula abantu abangi abaakoseddwa n’enkyukakyuka eno.
Yagambye nti abantu babadde beesunga okufuna abakulembeze be bakkiririzaamu nga be babeeloondedde kye batannaba kufuna.