TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana ayiye petulooli ku nju za kitaawe n'azookya

Omwana ayiye petulooli ku nju za kitaawe n'azookya

Added 16th November 2017

Omwana w’omugagga w’e Kamuli yeesuddemu akambayaaya n’amansira petulooli mu bisenge by’ennyumba za kitaawe ssatu n’azikoleezaako omuliro, ebintu bya bukadde ne bisirikka.

 Malevu (mu katono) n’abalala nga beetegereza ebintu ebyayidde.

Malevu (mu katono) n’abalala nga beetegereza ebintu ebyayidde.

Omwana w’omugagga w’e Kamuli yeesuddemu akambayaaya n’amansira petulooli mu bisenge by’ennyumba za kitaawe ssatu n’azikoleezaako omuliro, ebintu bya bukadde ne bisirikka.

Nga tannazookya yasoose n’aggya ssenga we, Jesica Kasuubo, 85 eyagongobala mu nnyumba emu n’amusuula ebweru, oluvannyuma n’aggaalawo enzigi n’akoleeza omuliro ku nnyumba ennene, effumbiro, ennyumba y’enkoko ne ‘Boys Quarter’ mw’abadde asula n’okusomera ebitabo.

Yalabye gukkutte bulungi n’atuula mu luggya n’atandika okwewaana nti amaanyi ga ‘illuminati’ ge gookezza emmaali ya kitaawe.

Bino byabaddewo ku makya ga Mmande, Paul Waiswa, mutabani w’omugagga Waiswa Malevu ow’e Bulangaire ku njegooyego z’ekibuga ky’e Kamuli bwe yayokezza ennyumba za kitaawe.

Malevu y’omu ku bagagga b’omu kibuga ky’e Kamuli ng’alina edduuka erisuubiza okuli ebikozesebwa mu kusoma (stationery) ku Adams Road.

Ono era agula n’okutunda ettaka n’amayumba, alina enju z’abapangisa n’ebirala. Waiswa yabazzizza kitaawe ng’agenze okukola ate nnyina, Aidha Timugiibwa yabadde mu nnimiro.

Ebyayidde kuliko entebe, sideboard, TV ennene,wuufa, ebitanda, eby’okwebikka, ssente ezitamanyiddwa n’ebirala.

Malevu eyabadde asobeddwa yagambye nti omwana ono yajjanjabibwako ku bulwadde bw’omutwe ne balowooza nti awonye.

Oluvannyuma yakwatiddwa, DPC w’e Kamuli Colins Kyasimire n’alagira bamutwaale e Butabika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...