TOP

Eyawambye Mugabe yawunye magombe

Added 17th November 2017

Mnangagwa ng’ali e South Afrika Mugabe yayogera naye n’amusaba nti eby’obutwa tabyogerako kubanga kigenda kuleetawo ensasagge mu kibiina.

 Mugabe (ku kkono) ne Mnangagwa nga bakyali mu nsiko mu myaka gya 1970.

Mugabe (ku kkono) ne Mnangagwa nga bakyali mu nsiko mu myaka gya 1970.

Bya MUSASI WAFFE

OMUSAJJA atunuuliddwa okuddira Mugabe mu bigere, yasoose kuwunya magombe!

Kati bakitadde ku mukazi wa Mugabe nti ye yabadde emabega w’omupango gw’okutta omusajja ono ng’akozesa obutwa nti era kino kyakoleddwa ng’amaze okumwekengera nti yandimutwalako ekifo ky’Obwapulezidenti.

Kigambibwa nti olukwe olw’okutta Emmerson Dambudzo Mnangagwa 75, baalulukidde mu maka ga Robert Mugabe kyokka tekimanyiddwa oba Mugabe yabadde alutegeddeko.

 

Abooludda lwa Mnangagwa kye batalinaako kubuusabuusa ky’eky’okuba nga Grace Mugabe byonna yabadde abimanyi era nga y’abiseesaamu. Obutwa buno baabumuwadde emyezi esatu emabega era n’ebisago bye bwamutuusizzaako akyabirina.

Okusimattuka obutwa buno bakyogerako ng’ekyamagero era abamu bagamba nti bw’anaakwata obuyinza tayinza kusonyiwa Grace olw’okwegeza mu bulamu bwe; wabula Katonda n’azza bibye.

Okumanya nga Mnangagwa yayise ku lugwanyu, obutwa bwe yalidde obuyitibwa ‘Thallium’ bwa mutawaana nnyo nga businga kweyambisibwa ab’ebitongole bya bambega okutta abalabe ba Gavumenti.

Obutwa bwa ‘Thallium’, bwe baakozesa okutta omusajja Alexander Litvinenko eyali mbega mu kitongole ekya KGB kyokka n’addukira e Bungereza n’ebyama bya Russian wabula aba KGB banne ne bamulondoola mu kibuga London mu 2006 ne babumutega n’afa mu bulumi obutagambika.

MNANGAGWA ASIMATTUKA OBUTWA

Nga August 12, 2017, ab’ekibiina kya ZANU-PF ekiri mu buyinza baategese olukuhhaana ggaggadde olw’abavubuka e Gwanda nga lwetabiddwaako buli munene mu kibiina era Mugabe ne Grace nabo baabaddewo.

Mu kugenda ku mukolo guno, Mnangagwa nga tannagobwa mu kifo kye, yatambulidde mu namunkanga ey’amagye ne baminisita abalala babiri; Minisita w’Ebyokwerinda Sydney Sekeramayi ne Minisita w’Ebyobulamu David Parirenyatwa n’omwogezi w’ekibiina kya ZANU PF Simon Kaya Moyo.

Ku nnyonnyi, Mnangagwa teyamanya nti kuliko abaali bayisiddwaamu olukwe okumuggyawo. Yanyumya bulungi ne banne n’okulya ebintu bye baamuweera ku nnyonyi.

Mu bye yaliira ku nnyonnyi, kwaliko sumbuusa, omugaati n’ekibala ekiyitibwa ‘grape’ n’anywerako ne yogati. Waayitawo eddakiika nga 15, ennyonnyi n’ebatuusa ku mukolo, Mnangagwa n’atuula mu weema ey’abanene ne Mugabe mwe yalina okutuula.

Nga waakayita eddakiika musanvu ng’amaze okutuula kyokka nga bakyalindirira Mugabe okutuuka, Mnangagwa yawulira olubuto lumusalirira, amangu ago enjoka ne zitandika okumutokota n’ekyaddira kuwulira kammunguluze. Mu ddakiika ntono, ebbugumu lyamuyiikira n’atandika okukammuka entuuyo n’asituka okudda ebbali kyokka nga n’amagulu geesibye.

Omukuumi we yamanya nti ebintu si birungi kubanga embeera ya mukama we ng’etabuse ng’atandise n’okutanaka, bwatyo yatemya ku Minisita avunaanyizibwa ku bitongole ebikessi Kembo Mohadi naye eyasitukiramu n’ayita abasawo okwekenneenya Mnangangwa.

Abasawo baasalawo bamutwale mu ddwaaliro eddene eriri okumpi erya Matadaei Hospital mu kibuga Bulawayo kubanga embeera gye yalimu baali tebagisobola. Kyokka Mnangagwa yabigaana nti eby’okumutwala e Matadaei okwo kubeera kwewaayo mu mikono gya balabe.

Yali amaze okutegeera nti waliwo ekikyamuweereddwa ng’ali mu nnyonyi. Olwo yali amaze n’okujjukira abamu ku bakulembeze mu kibiina abategeddwa obutwa mu ngeri y'emu ne bafa.

Mnangagwa yeekakaba n’akubira omuduumizi w’amagye, Gen. Constantino Chiwenga n'asindika namunkanga y’amagye okumunona.

Bino nga bigenda mu maaso Mugabe yatuuka ku mukolo n'ategeezebwa ku byali bigenda mu maaso.

Waaliwo ensiitaano kubanga ab’ebyokwerinda bya Mugabe baagezaako okulemesa namunkanga y’amagye okugwa okumpi n’awaali omukolo nga bagamba nti tekikkirizibwa nnyonnyi etali ya Pulezidenti okugwa okumpi n’ekifo omukulu w’ali.

GEN. CHIWENGA ABATEBUKA

Gen. Chiwenga yabasinza amagezi n’asindika ennyonnyi bbiri, mu ngeri ey’okubuzaabuza, Mnangagwa n’assibwa ku nnyonnyi emu n’asooka okutwalibwa mu ddwaaliro ery’obwannanyini ery’e Gweru n’aweebwa obujjanjabi obusooka oluvannyuma ne bamutwaala mu ddwaaliro ly’amagye erya Manyame Military Hospital ne bongera okumwekebejja era awo ku kisaawe ky’amagye we baamukolera entegeka n’atwalibwa e South Afrika okujjanjabibwa.

Ng’ali e South Afrika Mugabe yayogera naye n’amusaba nti eby’obutwa tabyogerako kubanga kigenda kuleetawo ensasagge mu kibiina.

Olwo oluvuuvuumo lwali luyita nti Minisita w’Ebyokwerinda Sydney Sekeramayi ye yaggusa olukwe lw’okuwa Mnangagwa obutwa kyokka nga kigambibwa nti Grace Mugabe ye yabiri emabega.

Wadde Mnangagwa yagamba Mugabe nti ajja kukuuma eby’obutwa ng’ekyama ebintu byasajjuka n’abyasa mu lujjudde olw’obusungu bwe yafuna bwe baamubuulira engeri Grace Mugabe gye baamukolokota mu nkungaana za ZANU PF ezaddako ng’ali e South Africa ku ndiri.

Ekirala ekyanyiiza Mnangagwa ye mumyuka owookubiri owa Pulezidenti Phelekezela Mphoko okutegeeza nti abasawo b’omu South Africa baakebedde Mnangagwa nti ne bazuula nga yali alidde emmere egaze noolwekyo tewali kitiisa.

Mnangagwa yasinziira e South Africa n’agugumbula Mphoko nti ssi musawo we okutuuka okumwogerera era yafulumya ne lipoota y’abasawo (Medical Toxicology report) ng’eraga nti yalya emmere eyali eteekeddwaamu obutwa obw’ekika kya Thallium. Abaamutega obutwa baali beerabidde nti gwe babutega alina erinnya “Ngwena” eritegeeza “Ggoonya”.

‘Ngwena’ kigambo kya lulimi OluShona olwogerwa mu Zimbabwe ekitegeeza ‘Ggoonya’, era erinnya lino yalifuna mu myaka gya gya 1960 bwe yeegatta mu lutalo bannansi ba Zimbabwe lwe baggula ku bafuzi bw’Amatwale.

Lyekuusa ku kika mw’ava kubanga omuziro gwabwe Ggoonya, wabula lyakala nnyo olw’obukambwe n’obutasaaga ku buli kye yasalangawo okukola. We yeegattira ku lutalo olulwanyisa Abangereza, yali wa myaka 18 gyokka.

Mu lutalo yali mukujjukujju, muyiiya, ate ng’aweetaagisa eryaanyi alikozesa. Yasimattuka okuttibwa enfunda nnyingi era ekiseera kyatuuka ne bamuwa obuvunaanyizibwa bw’okukulira bambega abaayingiranga mu mayumba g’Abazungu ne ofiisi okubbayo ebyama.

 

BAAMUSALIRA EKY'OKUTTIBWA

Mnangagwa abadde musajja wa Mugabe ow’oku lusegere okuviira dala mu myaka egya 1960 bwe baali mu makomera ag’enjawulo Abazungu gye baabasibira. Abafuzi b’amatwale, baali baamusalira ekibonerezo kya kuttibwa kyokka n’asimattuka akalabba.

Yali wa myaka 19 we baamuweera ekibonerezo ekyo so ng’amateeka ekiseera kyo gaali tegakkiriza musibe atannaweza myaka 21 okuttibwa era ekyo ky’ekyamuwonya.

Mnangagwa yatendekebwa mu by’ekijaasi e Eyawambye Mugabe yawunyemagombe China, Misiri, n’amawanga amalala era yaliko omukuumi wa Mugabe ow’oku lusegere.

Abadde mu gavumenti emyaka gyonna 37 Mugabe gy’afuze Zimbabwe era ebifo bino mw’ayise bye byamuyambye okukwatagana n’amagye mu kuwamba Mugabe.

1 Minisita omubeezi ow’Obutebenkevu (1980–1988)

2 Minisita w’Ebyamateeka (1989–2000)

3 Minisita w’Ebyensimbi (1995–1996)

4 Sipiika wa Palamenti (2000–2005)

5 Minisita w’Ebyamayumba (2005–2009)

6 Minisita w’Ebyokwerinda (2009–2013)

7 Minisita w’Ebyamateeka (2013–2017)

8 Omumyuka asooka owa Pulezidenti (2014–2017)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...