TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kifulugunyu afudde yeemulugunya olw'obutakuzibwa

Kifulugunyu afudde yeemulugunya olw'obutakuzibwa

Added 17th November 2017

Wadde Kifulugunyu yalaama kumuziika mu mbugo zokka aba famire bakkigyeemedde ne bamuziika mu keesi.

 Abantu nga bakuba ku mulambo gwa Kifulugunyu eriiso evvannyuma.

Abantu nga bakuba ku mulambo gwa Kifulugunyu eriiso evvannyuma.

Bya MOSES LEMISA

SGT. Kifulugunyu yaziikiddwa ng’abafamire ye si bamativu olw’engeri gye yayisibwamu mu magye n’atuuka n’okuwummula nga takuziddwa.

Wadde abadde yeeyita Sergeant, amyuka omwogezi wa UPDF, Lt. Col. Deo Akiiki bwe yabadde amwogerako yagambye nti, yawummula amagye mu 2008 ng’ali ku ddaala lya Warrant Officer Class I (WOI).

Kifulugunyu ng’amanya ge ye Stephen Ssempagala, yaziikiddwa ku biggya bya bajjajjabe e Namiringa mu disitulikiti y’e Mubende.

Christopher Ssempagala Bwogi, omukulu w’oluggya lwa Sitefano Ssempagala e Namiringa - Mubende yagambye nti Kifulugunyu okuva lwe yayingira mu magye abadde ku ddaala lya Sgt. (bbo lye babadde bamanyi) ng’era kino kibadde kimuyombya olwa Gavumenti obutamukuzza. Bino bye bimu ku byamuviirako okuwummula mu magye.

Bwogi yagambye nti yeewuunyizza okulaba nga waliwo famire ekaayanira Kifulugunyu n’agamba nti balabika babadde balina bye baagala kuba tebawulirangako mwana mu luggya lwabwe akaayanirwa.

Kifulugunyu bwe yafiirwa mutabani we Kato Kifulugunyu, baamuziika ku kiggya kino nga yeebuuza abakaayana kati lwaki tebaavaayo.

N’agamba nti taata wa Kifulugunyu yazaala abaana 33 nga Kifulugunyu wakutaano.

Yagambye nti kitaawe wa Kifulugunyu yalina obusungu bungi nga bw’anyigga, n’abaana abazaalukukuka era lumu Kifulugunyu baafunamu obutakkaanya ne kitaawe n’amuzaalukuka kyokka byali mu bigambo si mu musaayi ng’era bbo ab’ekika teyabagambako nti Kifulugunyu si mwana we.

Mu September w’omwaka guno Kifulugunyu yagenda n’abaana be ne balima ebiggya.

Robina Namubiru 55, ow’e Mbiko ku lw’e Jinja, Kifulugunyu gwe yasooka okuzaalamu abaana yategeezezza nti baalabagana ne Kifulugunyu mu 1970 ku kyalo Mpummudde e Jinja ne bakola obufumbo nga bapangisa nga baagenda okwagalana nga Kifulugunyu mujaasi.

Mu 1971 baazaala omwana waabwe asooka ng’asembayo baamuzala mu 1981 nga bonna yabaatwalanga nga Kasanda Mubende ne babatuma amaanya .

Yayongeddeko nti mu 1981 yayawukana ne Kifulugunyu oluvannyuma lwa Gavumenti okusiba abaserikale abaali aba Amin.

Wadde Kifulugunyu yalaama kumuziika mu mbugo zokka aba famire bakkigyeemedde ne bamuziika mu keesi.

Omuwendo gw’abaana Kifulugunyu be yalesse tegwayogeddwa. Waliwo abaasoose okulaga nti alesse abaana abasoba mu 30.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...