TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannansi ba Polond bajjukidde bannaabwe abaafiira mu Uganda wakati wa 1942-1951

Bannansi ba Polond bajjukidde bannaabwe abaafiira mu Uganda wakati wa 1942-1951

Added 18th November 2017

Bannansi ba Polond bajjukidde bannaabwe abaafiira mu Uganda wakati wa 1942-1951

 Wano nga bali ku ntaana z'abagenzi

Wano nga bali ku ntaana z'abagenzi

BANNANSI ba Poland bajjukidde baannaabwe abafiira mu Uganda wakati w'omwaka 1942-1951 bwe badduka e Serbia mu ssematalo ow'okubiri.

Bano bakulembeddwa Senator Maciej  Luczak nga basoose kugenda ku ntaana ezaziikibwamu abantu abali eyo mu 100. Baganzise ebimuli ku ntaana n'okukoleeza emisubbaawa.

Bano babadde ku kyalo Mpunge-Kkojja mu ggombolola y'e Mpunge mu disitulikiti y'e Mukono.

Gavumenti eya wakati ekulembeddwa ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono Andrew Ssenyonga ne RDC Maj. David Matovu.

Senator Luczak era agguddewo ekizimbe kye bazimbye ku ddwaliro ly'e Mpunge nga kino kiriko waadi y'abakyala, abaami, n'abaana.

Bano baataddemu n'amasannyalaze g'enjuba n'ebitanda ng'awamu biwemmense ensimbi obukadde nga 250.

Senator agambye nti baakoze kino olw'okusiima omukwano Uganda gwe yalaga abantu baabwe mu kiseera ekyo.

RDC Matovu alabudde abantu okwewala okutabula emirembe n'agamba nti bano baava e Poland okujja e Uganda olw'entalo ezaali ewaabwe. Matovu asabye nti Bannayuganda basaanidde okulonkoma abo abaagala okutabula emirembe eri ab'eny'okwerinda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...