TOP

Katikkiro alabudde ebitongole by'e Mmengo

Added 20th November 2017

“Bw'oba tosoma bitabo ogenda kuwutta era kino kya busawo. Bw'osoma ebitabo obutafaali obupya bukolebwa mu bwongo kubanga bw'obeera olowooza ku ky'osoma obwongo bulagira omubiri okukola obutofaali obupya mu bwongo,” Mayiga bwe yabuulidde abeetabye mu lusirika luno.

 Omubaka Ssekigozi (ku kkono), Katikkiro Mayiga (wakati) n'omumyuka owa Katikkiro owookusatu Apollo Makubuya.

Omubaka Ssekigozi (ku kkono), Katikkiro Mayiga (wakati) n'omumyuka owa Katikkiro owookusatu Apollo Makubuya.

Bya DICKSON KULUMBA

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akubirizza abakola emirimu gy’Obwakabaka okunyiikira okusoma ebitabo ng’erimu ku kkubo ly’okuwagala obwongo.

Yalaze n'obwennyamivu olw’ebitongole by’Obwakabaka okuba nti tebinnatandika kuwagiragana nga buli kimu kyefaako kyokka.

Bino yabyogedde aggulawo olusirika lwa baminisita, abaami b’amasaza n’abakulira ebitongole by’Obwakabaka olwabadde ku Hot Spring Villas e Kanyanya - Ndejje mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde. Yawadde ekiragiro buli abakulira ebitongole okubeera n’ensisinkano buli myezi esatu.

“Bw'oba tosoma bitabo ogenda kuwutta era kino kya busawo. Bw'osoma ebitabo obutafaali obupya bukolebwa mu bwongo kubanga bw'obeera olowooza ku ky'osoma obwongo bulagira omubiri okukola obutofaali obupya mu bwongo,” Mayiga bwe yabuulidde abeetabye mu lusirika luno.

Olusirika luno lwagendereddwaamu okwekenneenya entambula y’enteekateeka ey’okukulaakulanya Obwakabaka eya 2014/2018 n'okukubaganya ebirowoozo ku nteekateeka eya 2019/2014.

Yagambye nti, buli kitongole okwerowoozaako kyokka tekitwala Bwakabaka mu maaso. "Enkola ya KYAPA MU NGALO bw'ereetebwa Buganda Land Board lwaki ebitongole ebirala tebigiwagira,” Katikkiro bwe yagambye.

Omubaka wa Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo, Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene yategeezezza nti, ng’ababaka ba Palamenti abava mu Buganda bamalirivu okutambulira awamu n’ensonga z’Obwakabaka naddala ku ttaka.

Omwami atwala essaza ly’e Kyadondo, Patrick Mugumbule yeebazizza olw’enteekateeka eno kubanga ewa abaami ekifaananyi mwe balina okutambulira nga bakola emirimu gyabwe.

Namutayiika 2014/2018 anaatera okukomekkerezebwa, Mmengo eyitiddemu okukola emirimu egy’enjawulo okuli; okumaliriza Masengere, okukola emirimu mu Masiro g'e Kasubi, okutereeza enkola y’emirimu mu Bwakabaka ng’embuga z’amasaza n’amagombolola ezisinga emirimu gitambula bulungi.

Ekimu ku bisoomooza ebitongole by’Obwakabaka kuliko; okwekalakaasa kw’abayizi mu Muteesa I Royal University, okuvaako ku mpewo okwa K2, n'ebbula ly’ensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...