TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Reagan JO foundation badduukiridde eddwaliro ly'e Mityana

Reagan JO foundation badduukiridde eddwaliro ly'e Mityana

Added 21st November 2017

Reagan JO foundation badduukiridde eddwaliro ly'e Mityana

 Omukungu w'ekitongole kya Reagan JO Foundation ng'akwasa omusawo ebikozesebwa naddala ku baana abazaaliddwa nga tebanneetuuka

Omukungu w'ekitongole kya Reagan JO Foundation ng'akwasa omusawo ebikozesebwa naddala ku baana abazaaliddwa nga tebanneetuuka

DISITULIKITI  ye Mityana yonna terina musawo yakuguka mu bya kulabirira baana abazaalibwa nga tebanatuuka (premature).
 
Bino byayatuddwa Deborah Eyiiga akulira eby'okuzaalisa mu ddwaliro lye Mityana bweyabadde alaga  okusiima eri ekibiina kya REAGAN JO foundation ekyagabidde eddwaliro ebintu ebyeyambisibwa abaana abazaalibwa nga tebanatuuka.
 

Eyiiga agambye nti buli  mwezi bafuna abaana abawera 20 abazaalibwa nga tebanatuuka nga n'abamu bafa olw'obutabeerawo bikozesebwa nga mu kiseera kino tebalina musawo wadde omu eyakuguka mu by'okulabirira abaana be kika kino. 

 
Ayongeddeko  nti n'ebikozesebwa nabyo bitono mu ddwaliro , kuba balina ekyuma kimu kyokka mwe basobola okukuliza omwana abeera azaaliddwa mu mbeera eno.
 
Ebikozesebwa ebirala omuli abaana mwe bassiza n'obupiira mwe baliira balina nabyo balina bitono ddala.

Eria David Mulaliira akulira ekibiina kya Reagan Jo, agambye nti bbo  ng'abaana enzaalwa ye Mityana basazeewo okuddiza ekitundu mwe bazaalibwa bwebatonye ebintu ebiyamba abaana okussa n'obupiira mwe  baliira nga bibalirirwamu obukadde butaano.

 
Eyiiga asiimye obuyambi obwabaweereddwa n'ategeeza nti obuyambi bwakubayamba nnyo kuba buli  mwezi bazaalisa abakazi abali wakati we 450 ne 600. Abakazi abali wakati we 120 ne 150 bamala kulongoosebwa okusobola okuzaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...