TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Abatujju batemudde Abasiraamu 230 nga basaala e Misiri

Abatujju batemudde Abasiraamu 230 nga basaala e Misiri

Added 25th November 2017

Abantu abasoba mu 230 battiddwa mu muzikiti nga basaala Juma ku Lwokutaano e Misiri.

 Abamu ku booluganda lw'abantu abaatemuddwa mu muzikiti nga basaala akawungeezi k'Olwokutaano

Abamu ku booluganda lw'abantu abaatemuddwa mu muzikiti nga basaala akawungeezi k'Olwokutaano

Abantu abasoba mu 230 battiddwa mu muzikiti nga basaala Juma ku Lwokutaano e Misiri.

Omusiraamu yasoose kwaziina, ekyasombodde Abasiraamu abaabadde okumpi n’omuzikiti gwa al-Rawda mu kibuga Sinai ne gujjula.

Omuzikiti ogwo guli mu katawuni ka Bir al-Abed ku njegooyego z’ekibuga al-Arish ekikulu mu bitundu by’e Sinai mu mambuka ga Misiri.

Bamukwatammundu baageze abasaba Allah babulidde mu mwoyo ne babatulisizaamu bbomu n’abemmundu abalala ne babasasiramu amasasi awo abamu baatandise okugezaako okudduka mu muzikiti kyokka nga nabo ab’emmundu bakira babakuba ku nnyama.

Bbomu yasitudde mu bbanga bonna abaabadde bali okumpi nayo era akatundu we yatulikidde tewali yavuddewo nga mulamu. Buno bwe bulumbaganyi obukyasinze okuba obw’amaanyi mu kitundu.

Pulezidenti wa Misiri, Abdul Fattah al-Sisi yalayidde okufiira ku baakoze ekikolwa ekyo wadde nga tewannabeerawo kabiina ka bannalukalala konna keewaana ku kikolwa ekyo.

Kirowoozebwa nti, abaakikoze beekuusa ku bannalukalala ba Islamic State (ISIS) abamaze ebbanga nga bakola obulumbaganyi ng’obwo mu kitundu ekyo naddala ku masinzizo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...