TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Amerika ereese ekyokulwanyisa ekiwugula emizinga gya North Korea

Amerika ereese ekyokulwanyisa ekiwugula emizinga gya North Korea

Added 1st December 2017

OMUKULEMBEZE wa North Korea Kim Jong un, mu ngeri ey’ejjoogo n’okulengezza akutte ebifaananyi bya mizayiro ye empya ttuku Hwasong-15, gye yagezesezza nga bukya ku Lwokusatu n’abiweereza Amerika n’asoomooza Donald Trump nti wa ddembe okugikoppa.

Mizayiro Hwasong-15 yakubiddwa ebifaananyi mu buli ludda nga biggyayo bulungi obunene n’obuwanvu bwayo n’ebintu byonna ebigiriko okuli ne yingini bbiri ne ttanka z’amafuta ezigiddusa sipiidi okusinga n’ekimyanso.

Kim Jong yasoose kufulumya ku ttivvi y’eggwanga ebifaananyi bya mizairo ne vidiyo ey’omukolo ogw’okugigezesa ebyamulaze ng’agirambula mu kkolero lyayo wamu n’ebyabaddewo mu bbanga lya ssaawa nnamba mu kiro ekyakeezezza ku Lwokusatu lwe yagezeseddwa.

Hwasong-15 y’emu ku bika bya mizayiro za North Korea ezigwa mu ttuluba erya ‘Intercontinental ballistic missile (ICBM) nga mu kugigezesa yakubiddwa okuva ku kitundu eky’e Kusong ekisangibwa mu bukiikakkono bw’ekibuga ekikulu Pyongyang.

Olwagitegudde ku ttaka ng’ekimyanso, mizayiro Hwasong-15 yasoose kutumbiira mu bire kkirommita 4,475 (ze mayiro 2,800) n’eryooka etolontoka kkirommita 950 buli ddakiika nga yamaze mu bwengula eddakiika 53 ng’ensi yonna naddala Amerika, Japan ne South Korea ziri ku bunkenke tezinnamanya wa mizayiro w’egenda okugwa.

Waayiseewo eddakiika 53 ng’eri mu bwengula, mizayiro eno ne yeekkata mu mazzi mu g'eriyanja Sea of Japan

NG’ENDA KUKUBA EMBWA - TRUMP

Ebbaasa omuli ebifaananyi bya mizayiro Hwasong-15, Kim Jong un yagiweerezza Amerika ng’abiyisa ku kitebe kya Vietnam mu kibuga Pyongyang ng’ewandiikiddwaako ekigambo ekinene 'URGENT' mu langi emmyuufu.

Kim Jong un okuweereza Amerika ebifaananyi, Pulezidenti Trump yabadde yaakamala okumuyita ‘ sick puppy’ ekitegeeza ekibwa ekito ekirwadde bwe yabadde ayanukula ku bibuuzo ebyamubuuziddwa bannamawulire ku ki ky’ateekateeka okukolawo oluvannyuma lwa North Korea okugezesa mizayiro.

Trump eyabadde ayogerera mu lukuhhaana lwe yakubye mu ssaza ly’e Missouri okwogera ku tteeka ery’emisolo erigulumbya Amerika, yagambye ‘ekibwa ekito ekirwadde’ kigenda kunziggyamu enjawulo”.

Yagambye nti Amerika Kim Jong un gwe yayise erinnya eddala erimutyoboola erya ‘Little Rocket man’ agenda kwejjusa mu bbanga ttono lwaki yeesimbye mu Amerika n’annyonnyola nti yabadde yaakava ku ssimu ne Pulezidenti wa China Xi Jinping ne bakkaanya ku bimu ku bigenda okukolebwa ku Kim Jong un “ Njogedde ne Pulezidenti Xi Jinping owa China, tukkaanyizza okwongera okumyumyuula nnatti ku North Korea era ne tukkaanya China obutaddamu kuguza North Korea mafuta”, Trump bwe yategeezezza.

Omubaka wa Amerika mu kibiina ky’Amawanga Amagatte, Nikki Nimrata Haley yategeezezza nti buli olukya North Korea esemberera enkomerero yaayo olw’ebikolwa bya Kim Jong un.

Haley yasinzidde mu lukiiko olw’akakiiko ak’ekibiina ky’Amawanga Amagatte akavunaanyizibwa ku byokwerinda n’agamba nti, we bituuse, Amerika terina kyakukola okuggyako okusaanyawo North Korea singa olutalo lunaatandika

AMERIKA ERAZE EBIKWATA MIZAYIRO EBY’OMULEMBE

Mu ng’eri y’okwanukula ebikolwa bya North Korea, Amerika efulumizza ekyuma eky’omulembe n’eraga obusobozi bwakyo okubaka mizayiro za North Korea singa eba ezisindise okukuba ekitundu kya Amerika.

Abakugu b’amagye ga Amerika baategeezezza nti ekyuma kino nakyo ekyakolebwa mu ngeri ya mizayiro kirina obusobozi obupima amaanyi ga mizayiro eba esindikiddwa, emisinde kw'eddukira ne n’obuwanvu bw'erimu.

Ekyuma kino kyagezesereddwa mu nkambi y’amagye ga Amerika ag’omu bbanga esangibwa mu kitundu ky’e Colorado Amerika n’egattako nti erina obusobozi okusimba ebyuma bino mu mawanga g'erowooza nti North Korea eyinza okwanguyirwa okugalumba okuli Japan ne South Korea banywanyi ba Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...