TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Engeri muka Mugabe gy'abadde acanga abasajja 6: Kuliko minisita ne Gavana wa Bbanka Enkulu

Engeri muka Mugabe gy'abadde acanga abasajja 6: Kuliko minisita ne Gavana wa Bbanka Enkulu

Added 1st December 2017

NGA waakayita emyaka ebiri gyokka nga Grace afumbiddwa Pulezidenti Robert Mugabe, oluvuuvuumo lwatandika nti omukazi alina omusajja omulala gw’atandise okukukuta naye.

 Makamba ng’afukamidde wansi yeegayirira Mugabe amusonyiwe.

Makamba ng’afukamidde wansi yeegayirira Mugabe amusonyiwe.

Aba famire ya Mugabe nga bakulemberwa ssenga w’abaana Sabina Mugabe (mwannyina wa Mugabe) bwe beekuba ku Mugabe nga bamutemyako ku bigenda mu maaso, ne balaba ng’alinga gwe bassa mu ccupa, kwe kudda ku “pulaani B”.

Nga wayise emyaka ng’etaano, beesitula ne bagenda mu ba famire y’omukazi nga balowooza nti be banaagamba ku muwala waabwe aleme kulabankana.

Kyababuukako omu ku baganda ba Grace bwe yabakubirawo eggambo nti; “Omusajja bw’aba teyeesobola ate ng’ekibanja tekisalako, mwagala akole atya?” Gye biggweeredde ng’ekibanja kimize mukaaga!

Abamu baanenya Mugabe okulekawo ab’emyaka gye n’awasa omukazi gw’asinga emyaka 41! Mugabe yawasa Grace mu 1996 ng’omusajja wa myaka 72 ate omukazi ng’alina 31 gyokka.

BAFULUMIZZA OLUKALALA LW’ABASAJJA 6 B’AZZE ACANGA

Abantu mu Zimbabwe bawuniikiridde, olukalala bwe lufulumye olw’abasajja mukaaga Grace Ntombizodwa Marufu Mugabe b’abadde acanga; nga kuno kw’abadde agatta ne nnamukadde we Mugabe ow’emyaka 93.

Olukalala luliko: 1. Peter Pamire – yali musuubuzi mu kibuga Harare

2. Gideon Gono – yali Gavana wa Bbanka enkulu

3. James Makamba

4. Phillip Chiyangwa

5. Wicknell Chivayo

6. Patrick Zhuwao

Kuno bagattako ne be bateebereza okuli Simba Chikore ng’ono yalabwako ku mukolo ogumu ng’agezaako okunywegera Grace.

Abaali ku mukolo bagamba nti Grace yakola obubonero obujjukiza Simba nti ekifo we bali si kituufu, era Simba kwe kuzzaayo emimwa.

Wabula abamu baasigala balumiriza nti Simba yanywegera Grace mu lujjudde era nga bagattako nti baalaba n’okwetegereza ne beetegereza.

Omukutu gwa Daily News e Zimbabwe gwategeezezza nti Cain Chademana eyali omukuumi wa Mugabe y’omu ku baalina bwino ku ngeri Grace gy’acanga abasajja wabula bwe yafa mu ngeri erimu ebibuuzo kyatiisa buli muntu eyalina ky’amanyi era buli omu n’asirika okutuusa wiiki ewedde lwe baakakasizza nti Mugabe agenze, n’omukazi takyalina ky’ayinza kubakola; ne batandika okuggyayo bwino.

BAGANZI BA MUKA MUGABE KULIKO ABADDE MINISITA

Abadde minisita mu gavumenti ya Mugabe nga y’avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi Patrick Zhuwao, y’omu ku bali ku lukalala.

Nti ono ye musajja asembyeyo mw’abo Grace b’abadde acanga. Ekyewuunyisa omusajja ono alina oluganda ku Mugabe. Zhuwao nga kati yaddukidde South Africa agambibwa okuba nti y’asembyeyo okupepeya ne Grace nti era ono yayingirawo emyaka etaano emabega nga Mugabe olumbe lumugonzezza takyalinamu luyingo era nga ne mu kisenge takyakiika.

Zhuwao kizibwe wa Mugabe. Kigambibwa nti Sabina bwe yali anaatera okufa mu July 2010, yayita mukulu we Mugabe n’amutegeeza nti yeetaaga okwegendereza ennyo abasajja Grace b’acanga era n’amuwa amagezi okutwala omwana asembayo obu- Engeri muka Mugabe gy’abadde acanga abasajja Makamba ng’afukamidde wansi yeegayirira Mugabe amusonyiwe.

Phillip Chiyangwa Patrick Zhuwao Peter Pamire Gideon Gono to ku musaayi (DNA) kubanga obubonero bwonna bulaga nti omwana oyo Chatunga Bellarmine, wa musuubuzi Pamire.

Tekimanyiddwa oba Mugabe omwana ono yamutwala ku musaayi. Mugabe yatandika okwagalana ne Grace (eyali omuwandiisi mu ofiisi ya Pulezidenti) mu 1987 era mu kiseera ekyo Mugabe yali mufumbo ne mukyala we eyasooka Sally enzaalwa y’e Ghana era mukyala mukulu bwe yafa mu 1992 ne bategeka embaga ey’ekyasa mu 1996.

Grace olwo naye yali ayawukanye ne bba Stanley Dako Goreraza, eyali omujaasi mu ggye lya Zimbabwe ery’omu bbanga kyokka Mugabe yakozesa obuyinza bwe ng’omuduumizi w’eggye ery’oku ntikko, yasindika omusajja ono e China okukolera ku kitebe kya Zimbabwe olwo ne yeefunza bulungi Grace ne bazaala n’abaana basatu okuli omu atankanibwa.

Omukutu gwa Bulawayo 24 News ogw’e Zimbabwe gwategeezezza nti wakati mu bufumbo obw’emyaka 21, Grace ayagaliddemu abasajja abawerako nga yatandikira ku Pamire era oyo yafiira mu kabenje akagambibwa nti kaapangibwa basajja ba Mugabe abaali abanyiivu olw’omukazi okujooga Muzeeyi.

Awo yayingizaawo Gavana Gono nti era ono baatandikira mu ddiiru za ssente ne bimaliriza nga biyingiddemu ne laavu. Ono bwe yategeera nti Mugabe amuguddemu, n’adduka mu ggwanga.

Awo Grace yayingizaawo Makamba wabula naye ebintu byamutabukako nga Mugabe bamutegeezezza era Makamba mu kusoberwa yasalawo agende yeetondere Mugabe.

Yafukamira mu ddiiro nga ne Grace waali n’ategeeza Mugabe nti ebyogerwa byonna nti alina enkolagana ne Grace bifu bwe ffuffululu.

Makamba nti yamugobereza Chiyangwa ne Chivayo olwo n’asembyayo Zhuwao abadde akyatambuza ekintu, okutuusa Mugabe lwe baamuwambye ne baawukana.

EBIRALA MU BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...