TOP

Ebika bya gaalubindi abawala bye bettanira

Added 2nd December 2017

Ebika bya gaalubindi abawala bye bettanira

‘SHADES’ oba gaalubindi z’omusana kye kimu ku biraga omuntu atambula n’omulembe. Sumayiya Namutebi ne Grace Namubiru ab’e Gayaza bagamba nti zino tebazisuulirira era bafuba okwambala ebika ebiba byakajja ku katale. Ennaku zino gaalubindi ezirimu tinti nga kitaka, emmyuufu, kiragala, bbulu n’endala ze zimu ku zettanirwa abawala.

Ronald Lumu, atunda gaalubindi zino agamba nti ennungi zigula wakati wa 30,000/- ne 40,000/- Agattako nti gaalubindi ennaku zino kijjira mu dizayini omuli kiwojjolo, katunda, kikoola n’endala.

Lumu ayongera nti waliwo z’osobola okwambala ng’ogenda ku mulimu ate endala zo za mu bifo ebisanyukirwamu. Ekika kya kiwojjolo kinyumira abalina ffeesi engazi era nga za mu bifo ebisanyukirwamu.

Ekika kye baakazaako erya katunda zinyumira ku mbaga n’okwanjula. Zibikka bulungi amaaso, era nga zino zikolebwa mu dizayini enneetooloovu ne bookisi oba ey’ensonda 5, nga kino kye kisinga okwettanirwa abavubuka.

Gaalubindi zino wadde ziyamba mu okuziyiza omusana okwaka maaso obutereevu, abamu bazambala okubawa obuvumu naddala nga bali mu bifo bye batya okubeeramu. Ziyamba n’okutangira empewo n’enfuufu okuyingira mu maaso kuba bino bigoonoona

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...