TOP

Lwaki oteekeddwa okusiba engogo ku nnyumba yo

Added 2nd December 2017

Lwaki oteekeddwa okusiba engogo ku nnyumba yo

ENGOGO kye kimu ku bintu abazimba amayumba bye babuusa amaaso ng’ate bya mugaso mu kulabisa obulungi ennyumba, okukung’anya amazzi agava ku nnyumba n’amazzi obutayonoona nnyumba nga gavunza emiti n’ebisenge. Engogo zisibwa waggulu okwetooloola ennyumba yonna amazzi ne gasobola okukung’anira mu kifo kimu nga ttanka oba ppipa.

EMIGASO GY’ENGOGO Ying. Mathias Mulumba okuva mu Pure Construction Company yagambye nti si kirungi omuntu okuyingira ennyumba nga tasibyeko ngogo. Ziyamba okukwata amazzi agandiyonoonye ennyumba yo ne kiviirako okukendeeza ku buwangaazi bwayo.

Engogo ziyamba okukuuma ebisenge nga bigumu. Ennyumba okutali ngogo amazzi gakulukutira ku mabaati ne gakkirira ku bisenge ekibireetera okunnyuukirira. Kino bwe kitwala ekiseera ennyumba efuna ennyaafa n’enafuwa n’okufuuka ey’obulabe eri abantu abagibeeramu kubanga ebisenge biyinza okugwa.

Okukuuma emiti obutavunda n’ebyuma obutatalagga. Enkuba bw’etonnya amazzi gatuukira ku miti egyakozesebwa mu kusereka oba feesiboodi ekigireetera okuvunda. l Ebyuma by’enzigi n’amadirisa nabyo bibeera byolekedde okutalagga olw’amazzi agayita mu bisenge ne gabituukako.

Emiti bwe givunda kiba kitegeeza nti olina okusereekulula n’oddamu n’osereka ng’okozesa emiti emigumu. Kino kitwala ssente n’obudde ate nga wandibadde okyewonya ng’okozesa engogo.

Okukuuma omusingi. Amazzi buli lwe gayiika ku ttaka ng’enkuba etonnye kiviirako ettaka okugonda amazzi ne gayingira mu musingi. Amazzi gano gakendeeza obuwangaazi bw’ennyumba.

Okuziyiza amazzi okusammukira ebisenge: Ennyumba bw’eba teriiko ngogo enkuba bw’etonnya amazzi gasamukkira ebisenge nga mulimu ettaka era buli kiseera ojja kubeera mu kusiiga langi ekintu eky’ebbeeyi ennyo.

Okukuuma oluggya. Oluusi oluggya lukutwalira ssente nga lukolebwa naddala okugula emiti, omuddo n’ebimuli oba okuyiwa enkokoto n’okusiba pevaazi. Kati bw’otatangira mazzi gano, gajja kukuluggusa ettaka lyonna lyonoone oluggya lwo. Gayinza okuleka nga gakuluggusizza omuddo gwe wasimba n’okukola emikutu mu lugya egiteetagisa ne lufaanana bubi.

Okukung’anya amazzi. Ying. Mulumba agamba nti engogo ziyamba okukung’anya amazzi nnannyini nnyumba gakozesa okukola emirimu gy’awaka ng’okwoza ebintu, okusiimula ennyumba, okwoza engoye n’emirala n’akendeeza ku ssente z’asaasaanya ng’asasulira amazzi.

Ate bw’aba mulimi gamuyamba okufukirira mu biseera by’omusana. BY’OGOBERERA NG’OSIBAYO ENGOGO Ying. Mulumba yagambye nti bw’oba ogenda okusibayo engogo kikwetaagisa okufiuna omukugu n’akuwabula n’okukukolera omulimu omulungi.

Bw’oba osibayo engogo olina okwegendereza kye bayita ‘slope’ soma siroopu. Wano amazzi we gayita okugenda we gakung’aanira okugeza mu ttanka. Walina okuba nga weesuliseemu okuwa amazzi omwagaanya okukulukuta obulungi.

Henry Ssekisambu owa Premier Gutters e Kibuli agamba nti obuuma obusiba engogo obuyitibwa ‘cramp’ soma ‘kulampu’ bulina okusibibwa kumukumu olugogo lusobole okunywera obulungi ku nnyumba.

Buli luvannyuma lwa mmita emu olina okusibawo akuuma kano. Kino kiyamba okuwanirira olugogo luno naddala ng’enkuba nnyingi. l Ku ky’okusibayo engogo zino, Ssekisambu yagambye nti osasula ebitundu 15 ku buli 100 ku ssente z’engogo z’oguze. Kino kitegeeza nti bw’ogula engogo za kakadde, osasula emitwalo 15.

Engogo zirina okuyonjebwa oluvannyuma lw’ebbanga eggere okusobola okuggyamu ettaka erikwata ku mabaati, kasasiro n’ebintu ebirala ebigwa mu ngogo. Bw’otoziyonja kiziviirako obutatambuza bulungi mazzi ne kizireetera okwonooneka.

Ennyumba okugendako olugogo kyandibadde kirungi ng’erina feesi boodi. Feesi boodi eyamba okusiba obulungi olugogo nga lwesuliseemu n’okubeera mu layini ekiyamba amazzi okukulukuta obulungi. Mulumba agamba nti abantu abasiba engogo ku nnyumba nga tekuli feesi boodi bakola kikyamu kubanga babeera bagenda kuzisibayo nga tezeewunziseemu ekireetera amazzi obutatambula bulungi era enkuba bw’etonnya nga nnyingi gonna gaggweera wansi.

EBIKA N’EBBEEYI Y’ENGOGO Okuva edda abantu baali balembeka amazzi agavudde ku mabaati nga bakozesa ebintu eby’enjawulo. Abasinga baakozesenga engogo eziweteddwa mu mabaati n’endala nga bazisala ku migogo gy’ebitooke.

Engogo zino zikolebwa mu sayizi ya yinci 5 ku 6. Naye kati enkola eyo abantu bagenze bagidibya okuggyako abatono ab’omu byalo. Abatambula n’omulembe, bakozesa engogo za pulasitiika kyokka zino zaawukana mu bika n’ebbeeyi. EBIKA BY’ENGOGO Babu Ssali owa Babu Hardware e Bwaise, yagambye nti engogo zikyuka mu bbeeyi n’ebika.

Huasheng Kino ky’ekika ekisembayo ebbeeyi entono kyokka zirina ebizibu ng’okwonooneka ng’oluweseemu, okusiiwuuka era ziwewuka nnyo. Lugula 24,000/-. l Jinglong Babu agamba nti ekika kino kitambula nnyo ku bantu abazimba. Luno bw’oluweta terwonooneka, lulabika bulungi ng’ate n’ebbeeyi si mbi. Olumu lugula 25,000/-.

Era Kino ky’ekika ky’olugogo ekisingako ku Huasheng ne Jinglong. Nnungi ate mpangaazi ng’olumu lugula 28,000/-.

Simbarand Babu yategeezezza nti ekika kino kye kisinga obulungi. Zibeera ngumu, ziwangaala, zibeera mu langi ya kkuliimu ate tezisiiwuuka. Olumu lugula 45,000/-. l Ku ngogo zino olina okuteekako akasengejja amazzi we gayingirira mu ttanka okuziyiza ebicaafu ng’ebikoola, amayinja, enfuufu n’ebiwuka okuyiika mu mazzi. Ate kibeera kikwetaagisa n’okuteekamu eddagala okutta obuwuka obuyinza okulwaza abantu abakozesa amazzi gano.

Henry Ssekisambu owa Premier Gutters e Kibuli yayongeddeko nti waliwo engogo eziva e South Afrika nga nazo nnungi kubanga mpangaazi. Zirimu ebika eby’enjawulo okuli: Square Gutter (Marley) nga za mmita 4.5. Buli lumu lugula 65,000/-. Square Pro ziri mu mmita 5.8 nga buli lugogo lugula 75,000/- era zisinga kwettanirwa bagagga. Tezisiiwuuka ng’ate zirabisa bulungi ennyumba bw’oba ofunye omukugu n’azikusibira

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...