TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino by'olina okugoberera ng'ogula emmeeza eriirwako

Biibino by'olina okugoberera ng'ogula emmeeza eriirwako

Added 2nd December 2017

Biibino by’olina okugoberera ng’ogula emmeeza eriirwako

 Dayiningi entonotono eneekulungirivu ey’entebe 4.

Dayiningi entonotono eneekulungirivu ey’entebe 4.

EDDIIRO awaliirwa emmere liswaza nnyo naddala ng’ofunye abagenyi ssinga teritegekebwa bulungi.

Mu maka agamu osanga emmeeza okuliirwa oba giyite diyiningi ttebo ng’ewummuziddwaako ebintu ng’engoye ezaanuddwa, ebitabo by’abayizi n’ebirala nga mu butuufu tefaananika.

Omukugu mu by’okuzimba n’okutegeka amaka, Ying. Kenneth Bisaso agamba nti abantu bangi tebafa ku ngeri eddiiro gye lifaanana ekitera okuswaza nga bafunye omugenyi. Agamba nti ab’engeri eno boolaba babuguutana nga bafunye omugenyi ne bayoolayoola engoye okuziddusa mu bisenge.

EKIFO WE LITEEKEBWA Bw’oba ozimba ennyumba ekisenge oba eddiiro awaliirwa emmere kirina okuliraana effumbiro n’eddiiro erituulwamu.

Oluusi oyinza okwawula eddiiro erituulwamu ku ddiiro eririirwamu oba okubigatta ng’entebe ze zibyawula. Bw’oba ozimba ekisenge kya dayiningi olina okugoberera bino wammanga. Omuwendo gw’abantu boosuubira okubeera nabo.

Emmeeza ya dayiningi gy’oyagala okugula n’obugazi bw’ekifo bwogenda okuzimbamu. Biki by’ogoberera ng’ogula dayiningi?

Bwoba ogula diyiningi olina kusooka kumanya bugazi bw’eddiiro w’ogenda okugissan’omuwendo gw’abantu abagenda okugituulako. Okugeza bw’oba olina abantu abasukka mu 10 nga boosuubira okutuula mu ddiiro, lirina okuzimbibwa nga ligwa mu ffuuti 10 ku 8 oba 7 sso ng’abalala bazimba nga ziri ffuuti 12 ku 8 oba 7.

Emmeeza za dayiningi zitera kutandikira ku za ntebe 6, endala zibeera za 8 oba okusingako.

EBIKA BYA DAYININGI 

Dayiningi ezisinga zikolebwa mu mbaawo so nga waliwo eza giraasi. Zikolebwa ng’oludda olumu luwanvuko okusinga ku lulala ate nga waliwo n’enneetooloovu. Dayiningi ezigendako entebe nga 10 zitera okutundibwa wakati wa 1,200,000/- ne 1,800,000/-. Eziriko entebe 6 zigula wakati wa 700,000/- ne 1,000,000/-.

Ali awafunda osobola okufuna dayiningi entonotono ey’entebe 4. Ennyumba ennaku zino zisibwamu tayiro naye ku bakozesa kapeti essibwa mu ddiiro erituulwamu teyandifaananye ya mu ddiiro liriirwamu. Kapeti y’omu dayiningi yandibadde ya ngeri ya ddiba nga kyangu okugirongoosa ssinga eddugala nga wayiiseewo amazzi, ebyokunywa oba emmere.

Dickson Bisaso omukugu mu by’okuteekateeka awaka agamba nti dayiningi yeetaaga okulongoosa kumpi buli lunaku ate kusaanako ne ‘table mats’ ezitangira ebyokya ennyo okwonoona emmeeza ya dayiningi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...