TOP

Basse omuntu mu bukambwene bamusuula mu mwala

Added 2nd December 2017

Basse omuntu mu bukambwene bamusuula mu mwala.

ABANTU abatannategeerekeka batemyetemye omusajja omulambo gwe ne bagusuula mu mwala mu zooni ya Agip okuliraana kkampuni y'amawulire eya Monitor Publications e Namuwongo.

Mark Zziwa nga mutuuze w'e Nsambya yattiddwa mu bukambwe, omulambo gwe ne bagupakira mu kibbookisi ne bagusula mu mwala . Abdul Kaweesi nga muvuzi wa bodaboda mu e Namuwongo y'omu ku baalabye omulambo guno, agambye nti omuntu eyabadde agenze okufuuyisa ye yagudde ku kibookizi kino nga kirimu omuntu.

Kaweesi ayongedde n'ategeeza nti, baayise poliisi n'ejja ne yeekebejja omulambo guno ng'omuntu ono yattiddwa mu bukambwe okwabadde okumufumita ebiso n'okumusiba emiguwa.

Safina Nakamya agambye nti ekifo kino kyabulabe kubanga waliwo abavubuka abateega abantu abakozesa oluguudo lw'eggaali y'omukka ne bababba.

Benard Mugerwa aduumira poliisi y'e Kabalagala evunaanyizibwa ku kitundu kino, agambye nti, omuntu ono tabadde mutuuze wa mu kitundu kino era kirabika baamuttidde walala olwo omulambo gwe ne baguteeka mu kibookisi ne bagusuula mu mwala.

Mugerwa ayongedde n'ategeeza nti bagenda kweyambisa kkamera eziri ku kizimbe we baasudde omulambo guno okumanya ekyabaddewo. Omulambo gwa Zziwa gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...

Ekizimbe kya Ivory Tower e ...

Amyuka Cansala wa Makerere University Polof. Barnabas Nawangwa atuuse ku ofiisi y'ebyensimbi n'evunaanyizibwa ku...