TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura atonzeewo Poliisi evunaanyizibwa ku by'obugagga bw'omu ttaka

Kayihura atonzeewo Poliisi evunaanyizibwa ku by'obugagga bw'omu ttaka

Added 5th December 2017

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura ataddewo ekitongole mu poliisi ekivunaanyizibwa okukuuma eby’obugagga by’omuttaka n'alonda abasirikale 17 abagenda okukikoleramu.

Kale Kayihura

Kale Kayihura

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura  ataddewo  ekitongole mu poliisi ekivunaanyizibwa okukuuma  eby’obugagga by’omuttaka n'alonda abasirikale 17  abagenda okukikoleramu.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga December 4, nga kiteereddwaako omukono gw’avunaanyizibwa ku mirimu mu poliisi, Hajji Moses Balimwoyo, Gen. Kayihura yataddewo ekitongole kino era n'awa abasirikale be yasindise okukikoleramu  mu kitongole ebiragiro kwe balina okutambuliza emirimu.

Mu bukwakkulizo Gen. Kayihura bwe yawadde abasirikale abakolera mu kitongole kino kuliko okulondoola ebifo byonna emirimu eby’obugagga eby’omu ttaka  n’okubikuuma okulaba nga tebisimibwa nga bwe gwali e Mubende abantu gye baali basima zaabu kyere.

Abasirikale abasindikiddwa okukolera mu kitongole kino nga baggyiddwa mu ofiisi ezenjawulo kuliko; D/SP Sarah Mwesigwa nga yakulira entambuza y’ebirimu n’ensimbi, D/SP Taban Chiriga y'akulira ebikwekweto, D/SP Abby Caleb  Tashobya y'akulira eby’okunoonyereza , D/SP Ian Kakuru y'avunaanyizibwa ku by'amateeka, ASP Mahad Kyagera  Aine y'avunaanyizibwa ku by’ekikessi.

Abalala kuliko;  ASP Isaac Kanzira  Kafureeka, Lauben Wasiima, ASP  Moses Karrakire Musinguzi,  ASP Jacob Baba Angundia, ASP Joshua Mwesigwa, C/ASP Dancan Kansiime , C/ASP Bonny Tumwesigye,  C/ASP Daniel Namanya, C/ASP Felestus Mbambu, C/ASP Levis Mugwisagye, C/ASP Sakinah Birungi, ne C/ASP Nathan Aryampa.

Abasirikale bonna abaasindikiddwa okukolera mu kitongole kino Gen. Kayihura yabalagidde okutandikirawo emirimu mu bunambiro .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...