TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu basimudde amalaalo ga Ivan Ssemwanga e Kayunga

Abazigu basimudde amalaalo ga Ivan Ssemwanga e Kayunga

Added 6th December 2017

ABANTU abatannamanyika bagenze ku malaalo g'omugenzi Ivan Ssemwanga ne bagasimula.

 Amalaalo ga Ivan Ssemwanga agaasimiddwa abazigu

Amalaalo ga Ivan Ssemwanga agaasimiddwa abazigu

ABANTU abatannamanyika bagenze ku malaalo g'omugenzi Ivan Ssemwanga ne bagasimula.

Baabadde bakyasima embwa  ezisula nga zirawuna awaka ne ku kiggya ne zibalaba ne zibatwala entyagi.

Baabadde basimye ekituli ekinene nga bagguse ku nkokoto era embwa bwe zaaboggodde abantu ababeera awaka ne bawulira ne batandika okukuba enduulu.

Okuva Ssemwanga lwe yaziikibwa waliwo abasikale ababadde bakuuma entaana wabula wiiki nga bbiri baalekayo okukuuma olw'obutasasulwa.

Ivan Ssemwanga yaziikibwa ku kyalo Nakaliro mu Kayunga Town council mu disitulikiti y'e Kayunga.

Ensonda mu famire zaategeezezza Bukedde nti waliwo akakiiko akaddukanya ebintu by'omugenzi okuli; Zari, Ssenyonjo, Ritah Ssemwanga ono mwannyina w'omugenzi n'abalala ke kaalina obuvunanyizibwa okusasula abakuumi kyokka olwokuba bali South Africa baludde okukomawo kuno olwo abakuumi ne bakandaalirira nga tebaweereddwa ssente eby'okukuuma ne babivaako.

Baali bakkanyizza okusasulwa akakadde kamu omwezi wabula n'omwezi ogwasooka baafunako 600,000/- kwe baakoma.

Omu ku ba famire, Ahmed Mugalaasi yagambye nti entaano baagisiba enkokoto n'emitayimbwa era yaguma bulungi kirabika nakyo kyakaluubirizza abazigu obutayanguwa kutuuka ku bisigalira by'omugenzi.

Ku ky'abasirikale ababanja ez'obukuumi, Mugalaasi yagambye nti abantu abateekeddwa okusasula babeera South Africa era bwe banaakomawo bajja kubasasula ssente zaabwe zonna ze babanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...