TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi z'omukenkufu; Tukuleetedde emigaso gy'ensogasoga n'engeri gy'oyinza okuzikolamu ensimbi

Leero mu mboozi z'omukenkufu; Tukuleetedde emigaso gy'ensogasoga n'engeri gy'oyinza okuzikolamu ensimbi

Added 6th December 2017

Leero mumboozi z'omukenkufu; Tukuleetedde emigaso gy'ensogasoga n'engeri gy'oyinza okuzikolamu ensimbi

 Emboozi z’omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch

Emboozi z’omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch

EBBANGA lyonna bajjajjaffe baalina obutamanya ku nsogasoga ne balemwa okuzifunamu emiganyulo egy’enjawulo.

Mu Uganda ensogasoga zisibuka mu Busoga, ensigo zaazo zimanyiddwa okuliibwa amayuba. Wano ne baggyawo n’enjogera egamba nti, ‘Alima ensogasoga teyeewala mayuba’.

Amayuba googerwako okutaambuza ensigo okuva e Busoga ne zituuka mu Buganda okwo gattako okuziteeka mu Kiyira nga kirowoozebwa nti mwe zaayita okutuuka e Misiri.

Bwe zaatuuka eno, baakizuula nti osobola okuzikozesa ng’omumuli, era baaziteekangako ppamba okukola emimuli, kuba abamu baasulanga mu mpuku nga bagikozesa okufuna ekitangaala okugoba ebisolo. Naye bajjajjaffe baazitya nga bagamba zitta.

Ensigo z’ensogasoga sooka ozisiikeko okufuna omuganyuloo.

Kino kituufu, kuba mulimu ekirungo kya ‘Ricin’ ekiri mu kikuta kyayo. Osobola okuggyamu ekirungo kino kasita ozisiika, nga bw’olaba soya nti aba waabulabe nga tomusiiseeko, kyokka bw’omusiikako aba talina mutawaana.

Ensigo ssinga ozisiikako, zisobola okuvaamu butto ayamba ku lususu, bangi mugula ‘Caster oil’ ne mulowooza nti linnya, wabula oyo bamukamula mu nsigo za nsogasoga, ssinga okozesa butto ono ku lususu terukosebwa musana.

Wano osobola okumakamula n’omukolamu ssente, ng’oguza abantu abeetaaga woyiro olw’emigaso gye.

Ku bakyala abakutuka enviiri, n’osaasaanya ssente mu saluuni n’okugula ebizigo ebimeza enviiri, ate nno bya buseere. Ezo ogenda kuziteeka mu bizinensi, anti butto w’ensogasoga bw’onoomusiiga mu mutwe togenda kuddamu kukutuka nviiri, kye kimu ne ku muntu alina situka.

 Ensogasoga ezitaddeko ebimuli. Naawe osobola okuzisimba n’ofunamu.

Ate bwe kituuka ku mulimi, butto w’ensogasoga miiru 20 bw’oziteeka mu liita 20 ez’amazzi n’ofuuyira mu kyeya, ebizigo bino biyambako ebirime obutakosebwa nnyo musana, naye kino tekitegeeza nti tolina kufukirira.

Kyokka empunya yaayo egoba ebiwuka mu nnimiro kati bw’ofuuyira okuziyiza omusana ate ofunamu n’okugoba ebiwuka, omuli n’obusaanyi.

Eyambako ku bakyala okuzibukula enseke ne ku bizimba, ate abaagala okweyoza mu lubuto nammwe ebakolera kyokka omukyala ali olubuto ggwe ate togikozesa kuba esobola okuluggyamu.  Ku muntu ali mu bizinensi y’okusiiga enjala, butto w’ensogasoga wandibadde omwekwata anti ayamba okugumya enjala.

Abakyala engeri gye baagala enjala zaabwe, mu kubasiiga wandibadde oteekako butto zijja kuguma bulungi zireme okukutuka ekijja okukwongera bizinensi.

Ensogasoga era ziyambako ku mugaba, abakyala ab’embuto bafuna mugaba n’abasajja abamu abanene nabo bamufuna, ssinga omukozesa akuyamba n’amalako mugaba.

Wiiki ejja hhenda kwongera okukulambululira emigaso emirala egy’ensogasoga olabe ne bw’ekuyamba ku mmotoka yo, okukola eddagala ly’engatto, okufumba n’okukugobako endwadde. Asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...