
Hanson Baliruno ng'ayimbira abawagize ku Protea Hotel
OMUYIMBI Hanson Baliruno eyakuyimbira obuyimba nga Njaga,Yes Yes ,Mandela ,Kikunta Malayika n’endala nnyingi katono asse abawagizi be enseko naddala abawala bweyabasabye bamwetegereze nnyo kubanga ye akyanoonya ate ssente alinawo ssi mpale enywera miguwa .
Baliruno okwogera bino yabadde mu woteeri ya Protea mu kampala ku Kabaga keyategekedde abawagizi be okumukulisa okumalako omwaka nga bakyali balamu n’okubeebaza okumwagala n’okwagala enyimba ze.
Ono yasoose kulamusa bawagizi be era neyeekubisa nabo ebifaananyi olwo n’alyoka alinnya ku siteegi n’akubiramu abawagizi be emiziki nga mwemwabadde ne zeyeyayiimba ng’akyali mu ggwanga lya Sweden ezakyamula ennyo abazungu era bweyatuuse ku kayimba ke akapya aka Njaga n’aggyamu esaati olwo n’alyoka azina amazina agakyamudde ennyo abawagizi be.