TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omuzigu amuyiiridde asidi ng'ayingira ewuwe

Omuzigu amuyiiridde asidi ng'ayingira ewuwe

Added 12th December 2017

ABAZIGU bateeze omukazi ne bamuyiira asidi bwe yabadde adda ewuwe ne bamuleka ng’ataawa.

 Nalumansi mu ddwaaliro

Nalumansi mu ddwaaliro

Margaret Nalumansi 30, omutuuze w’e Nabbingo, Ttega zooni yapooceza mu ddwaaliro e Kiruddu oluvannyuma lw’omuzigu okumuteega ng’anaatera okuyingira ewuwe n’amuyiira asidi mu maaso ne mu kifuba n’amuleka ng’ataawa.

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga ku ssaawa 3:00 ez’ekiro Nalumansi bwe yabadde ava ku dduuka lye erisagimbwa eTtega ku ssaawa 2:30 n’atuuka awaka nga zigenda kuwera ssaawa 3:00 ez’ekiro.

Omuzigu eyamuyiiridde asidi yabadde yeekwese mu katimba okuliraana amaka ge.

Nalumansi yategeezezza nti nga tebannaba kumuyiira asidi yagenzeeko ewa muliraanwa we okumusaba ekisumuluzo ky’ennyumba ye kyokka ng’eno yabadde y’akasiibula agenda kutuuka ewuwe omutemu kwe kumuyiira asidi n’addukira mu katimba akalimu emiti era nga kyabadde kizibu okulaba oba musajjja aba mukazi.

Yagambye nti yakubye enduulu eyasombodde abantu kyokka omutemu amaze okubulawo.

Shamilah Kiwalabye muliraanwa wa Nalumansi yategeezezza nti baayanguye okumuyiira amazzi ne bafuna sipensulo ne bamuddusa mu ddwaaliro e Rubaga kyokka ne babagoba bagende mu ddwaaliro e Kiruddu gy’ali kati.

Wiliiam Ssekansamba bba wa Nalumansi yategeezezza nti Nalumansi yajja n’abaana be babiri okuva mu 2008 n’amukkiriza abeere nabo era ng’obufumbo babadde babutambuza bulungi.

Ssekansamba yagguddewo omusango ku fayiro SD:23/18/11/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...