TOP

Ssemaka yeddiza amaka abaana ge baamugobamu

Added 13th December 2017

JOHN Baptist Lubega 85 ow’e Kanyanya mu Munisipaali y’e Kawempe abaana gwe baagoba mu maka ge azzeeyo.

 Lubega ( wakati), mukyala we ku ddyo n’omu ku baana be na yakaddaayo mu maka ge e Kanyanya.

Lubega ( wakati), mukyala we ku ddyo n’omu ku baana be na yakaddaayo mu maka ge e Kanyanya.

Bya Reginah Nalunga ne Moses Lemisa

Omubaka wa Pulezidenti e Kawempe, Deborah Nabukenya ye yazzizzaayo Lubega ne mukyala we Resty Nassuuna 43 mu maka abaana mwe baamugoba mu April 2016, ng’abadde yapangisa omuzigo e Nsangi gwe baamugobyemu olw’obutasasula.

Yaddukidde ewa Nabukenya eyasituukiddemu ne poliisi ne bazza Lubega mu nnyumba ye ne balabula abaana obutaddamu kutawaanya kitaabwe. Jennifer Nakanwagi, nga y’omu ku baana yagambye nti kitaawe yamuwa ettaka ly’e Kanyanya ffuuti 300 ku 200, okuli n’enju ya kitaabwe.

Kyokka Lubega yakiwakanyizza n’agamba nti ettaka lye yamuwa liri mu Ndeeba. “Siddamu okuwulira nga mutaataaganya kitammwe kuba buli muntu akolerera bukadde bwe”, Nabukenya bwe yategeezezza.

Halima Namatovu, omu ku baana Yagambye nti kitaabwe yazaala abaana bangi nga n’abamu tabamanyi . Alina ebyobugagga mu Ndeeba, Kitti, e Bagamba mu Kisenyi n’ebitundu ebirala.

Yategeezezza nga baganda baabwe Nakanwagi ne Matovu bwe babitunze nga ne bye basigazza babirina ku mpaka.

Nakanwagi ayogedde Taata ng’amaze okumpeerera yansaba okukwata ku baganda bange mbaweereere nga kwe yasinziira okumpa ettaka ly’e Kanyanya ne mu Ndeeba nga byonna yabikola mu mateeka.

Yagambye nti tewali agoba kitaabwe mu nnyumba wabula mukyala we Nakanwagi ye yamuggyawo awaka ne n’amutwala mu kupangisa n’ebigendererwa ebibbye.

Nakanwagi kino akiwakanya n’agamba nti n’emidaala gye yal lina mu Kisenyi mwe yali aggya ssente abaana bagimuggyako.

MWA NNYINA WA LUBEGA AYOGEDDE

Sarah Namukasa, yagambye nti yakulira mu maka g’e Kanyanya ng’ekisinga okumuluma kwe kulaba ng’abaana bamugoba mu nnyumba.

Yagambye nti ky’asinga okwagala kwe kulaba nga mwannyina abeera mu maka ge awatali kutaataaganyizibwa kuba omuntu omukulu okubulwa w’abeera ate nga yazimba amaka ge kiba kyannaku. Nneebaza abaamuzizzzaayo mu maka ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...