
Mu mbeera y’okuyiiya ssente, ensogasoga osobola okugikolamu eddagala ly’engatto, eddagala lino liba ddungi kuba linnyiriza engatto ate ne zikuumibwa nga tezikosebwa musana.
Abantu bamala ssente nga bagula eddagala eribayamba okukyusa langi z’enviiri naddala ennaku zino abafuna envi ate n’abo abalina ebiwalaata.
Wano osobola okukozesa ensogasoga n’okamulamu butto, wabula olina okuba ng’ozisiikidde ddala ne zibanga ezisiriira oluvannyuma n’olyoka ozikamulamu butto ono osobola okumugattamu akagiiko ka bbiya n’osiiga mu nviiri.
Butto aziyamba obutakutuka era Abalasita e Jamaica bazikozesa nnyo mu kukuza enviiri.
Butto takoma ku nviiri zokka, wabula ku muntu alina enkyakya n’abawunya ebigere butto w’ensogasoga kasita omukozesa akuyamba obutabifuna.
Kino Abajamaica be bakizuula nti buli lwe bakuza enviiri zifuna envi. Bwe bazuula butto w’ensogasoga ne batandika okumukozesa.
Osobola okumugatta ne bbiya oba amagi obyesiiga, tekola ddaayi, wabula aliikiriza enviiri envi ne zigenda.
Omuntu nga tannaweza myaka 65 envi buba bulwadde era ensogasoga esobola okukuvumula. Kyokka ku bakyala n’abaami abalina mugaba era ekuyamba, osiiga butto ku mugaba abule.
Wabula ku muntu alwalalwala, osobola okunywa akagiiko kamu mu kikopo ky’amazzi ajja kukuyamba omubiri okuba nga gulwanyisa endwadde.
Ku bantu abavuga mmotoka, ensogasoga butto waayo musiige ku lukoba lwa yingini ajja ku lukuuma nga lugumu. Asobola n’okugumya enkoba ezisiba ebintu abalina eggaali ne pikipiki bye batera okukozesa.
Ggwe alina ensawo ezirina eddiba erya ‘leza’, osobola okuteeka butto w’ensogasoga ku nsawo zino ajja kuzikuuma nga nnamu okumala ebbanga ddene kuba ne bw’eyakako omusana temala gafa. Ensogasoga esobola okuvaamu amafuta g’emmotoka.
Ggwe alina amanda, ssinga oteekamu ku nsogasoga ojja kukozesa amanda matono kubanga gaaka. Ate bano abagakola okuva mu kasasiro gajja kwaka. Omuntu alina akawoowo ng’oyagala okukeekuba kakusigaleko olunaku lulamba, sooka okuteeke mu woyiro w’ensogasoga n’oluvannyuma wesiige.
Abantu abataagala ku kaddiwa basobola okukozesa ensogasoga, butto akuuuma olususu nga terufuna mangu nkanyanya.
Abantu abakola ebizigo basaanye okutabulamu butto w’ensogasoga, ku baana abalina ebiguuna n’okwetakula ajja kubayamba bulungi. Ssinga okwata ejjuba n’olimaanya, ebyoya biddako mangu kuba zirya ensogasoga.
Ssinga omaanya enkoko ebyoya ojja kulaba ebbanga ly’eba eneemala nga tebinnamera. Ago ge maanyi g’ensogasoga.
Emboozi z’omukenkufu ne Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.