
Kimbugwe eyakwatiddwa mu bubbi buno n'akkiriza.
ABASAWO b’ekinnansi balimbyelimbye omusuubuzi w’oku Kaleerwe nti bamutaddemu eddagala erigenda okumutta bwe batyo ne bamusaba ssente 8,800,000/- okusobola okumuwonya.
Ali Kimbugwe 35, omutuuze w'e Busega nga musawo wa kinnansi abadde atunda eddagala ly'agamba nti, likola ku ndwadde ez'enjawulo okuli eriwonya kabotongo, ku bakyala mu nsonga z'omukwano, amaanyi g’ekisajja, obuganzi, eriyita bakasitoma n'ebirala.
Alina banne abatambulira mu mmotoka ekika kya Premio nnamba UAK 694P mu butale n'okuziika. Kimbugwe okukwatibwa kiddiridde Teddy Nakaweesi 24, omusazi w'endibota mu katale ka Kizito ku Kaleerwe okumuloopa nti yamubbye ssente 8,800,000/- oluvannyuma lw'okumutiisatiisa nti, amuyingizzaamu eddagala erigenda okumutta mubwangu ng’okuwona yabadde alina kusasula ssente zonna z'alinawo.
Nakaweesi yategeezezza nti, ku Ssande yali ava awaka e Nansana n'asanga abantu nga bakuhhaanidde ku mmotoka etunda eddagala naye kwe kuyimirira. Wano abasajja ababiri baamutuukiridde ne bamukwatakwata oluvannyuma ne bamugamba nti, bamuyingizzaamu akati ak'eddagala eritta nga ky'alina okukola kwe kubawa ssente bakamuggyemu.
Baamuwadde akakwakkulizo nti, talina kubuulirako muntu ate n'essente zonna z'alina alina okuziwaayo okusimattuka okufa. Yagasseeko nti olw’okutya yabaawako ssente 30,000/- ze yalinawo ne bamugamba tezimala ne bamussa mu mmotoka n’abatwala ewuwe n'abongera aka n'abongera ssente endala 8,800,000/- era ne bongera okumugamba nti, ezo ntono nnyo abe mugenzi asalewo mangu ku bulamu bwe ne ssente. Kino kyamuwalirizza okubatwala ku mulimu gye yabadde aterese ssente 3,000,000/- nabwo n'abubabawa.
Yagambye nti ng’amaze okuzibawa baamuwadde ennamba y’essimu kw'alina okubakubira okukakasa oba akati kamuvuddemu n'oluvannyuma ssente ze zimuddire. Yannyonnyodde nti, bwe yakubye ku ssimu yaabwe nga bye bamugamba tebikwatagana kyokka olw'okuba yali abeetegerezza n'aggulawo omusango ku poliisi y’oku Kaleerwe ku fayiro nnamba SD:REF:12/0710/2017. “Ssente zibadde za baze nga za kugula mabaati kusereka nju yaffe. Mu kiseera ekyo nali mpunze nga buli kye bahhamba kye nkola nga ntidde okufa", Nakaweesi bwe yawanyaze. Kimbugwe ng'ali ku poliisi yategeezezza nti, kituufu Nakaweesi amujjukira naye yamuggyako ssente 2,500,000/- zokka.
Yagasseeko nti kirabika banne be baamuggyako ssente endala n'agamba nti, kuliko Harunah Ssempa ne Abdu Kibuuka. Isaac Ongomu atwala poliisi y’oku Kaleerwe yategeezezza nti abantu bangi bakuhhaanira nnyo ku bantu abeeyita abasawo b’ekinnansi nga bamenyi b'amateeka. Yagasseko nti okusinziira ku bujulizi obuliwo bulaga nti Kimbugwe yeekobanye ne banne ne babba kubanga n'emmotoka mwe bakolera kirabika nzibe.