TOP

Si nze nasuula Muntu - Besigye

Added 16th December 2017

Rt. Col. Kizza Besigye avuddemu omwasi ku bya Mugisha Muntu okuwangulwa mu kalulu k’obwapulezidenti bwa FDC n’agamba nti talina butakkaanya bwonna naye era si ye yapanga olukwe olwamusuula.

 Muntu ne Besigye

Muntu ne Besigye

Besigye agambye nti abantu abaali ku bukiiko bwa Gen. Mugisha Muntu bwe yeerondera bennyini be baamwesuulira nga bazze mu ttabamiruka w’ekibiina.

Bino Besigye yabyogeredde ku leediyo ya FM emu mu Kampala ng’annyonnyola ebigenda mu maaso mu FDC.

Ebigambo bibadde biyitiηηana nti Besigye y’ali emabega wa Patrick Amuriat okuwangula Muntu ng’ekimu ku bibaawukanya kwe kuba nga Muntu akkiririza mu nkola ya ‘mirembe’ so nga banne bakkiririza mu kukozesa lyanyi okulwanyisa gavumenti.

Besigye era yatangaazizza nti enkola y’okweyambisa eryanyi okulwanyisa gavumenti ng’ekibiina kiyita mu kuguguba n’okwekalakaasa nti kyasalibwawo kitebe kya FDC era ng’enkiiko ezaakisalawo Mugisha Muntu ye yazikubirizanga noolwekyo tasobola kubyegaana.

“Wassibwawo n’akakiiko akakulirwa omubaka Ibrahim Ssemujju ak’okuluηηamya enkola y’okuguguba. Noolwekyo Mugisha Muntu tayinza kubyegaana,’’ Besigye bwe yagambye.

Besigye yagambye nti FDC erimu bambega ba NRM era tebali mu kibiina kino kyokka wabula n’ebirala nga DP, nga bino bikolebwa gavumenti esobole okweremeza mu buyinza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...