TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamenye ofiisi ne babba fayiro ku ttemu lya Kagezi ne Kaweesi

Bamenye ofiisi ne babba fayiro ku ttemu lya Kagezi ne Kaweesi

Added 17th December 2017

FAYIRO omubadde kalonda yenna akakwata ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi, Joan Kagezi, n’abayeekera ba ADF abaakwatibwa zibbiddwa.

 Abagenzi; Joan Magezi ne Andrew Felix Kaweesi

Abagenzi; Joan Magezi ne Andrew Felix Kaweesi

Ensonda zaategeezezza nti fayiro zino zibadde zaaterekebwa ku kompyuta mu ofiisi za ISO ezisangibwa ku Mawanda Road mu Kampala, abantu abatannategeerekeka gye bazisooberedde ne basika obuuma mu komputa kwe zabadde ne babulawo.

Ensonda zategeezezza nti ofiisi zino zassibwawo akulira ekitongole kya ISO, Col. Frank Bagyenda ng'abazikolamu y’abakulira, kyokka oluvannyuma ofiisi eno yakyusibwa n'essibwa wansi w’akulira emirimu gy’ekikugu, Maj. Charles Oluka ng’amyukibwa James Jjumba.

Fayiro zino zabbibwa nga November 25, 2017. Ensonda zaategeezezza nti ebisumuluzo bya ofiisi zino bivunaanyizibwako abantu babiri okuli Richard Kanzira ng’ayambibwako Lt. Iavan Bwende.

Kyokka ekikyabobbya aba ISO omutwe y’engeri ababbi gye baayingidde mu ofiisi zino ne baggyamu fayiro zino era nga n’ekigendererwa kyabwe tekinnamanyika.

Okubba fayiro zino kijjidde mu kiseera nga waliwo oluwonko wakati wa poliisi, ISO ne CMI ku ludda olulala era ISO ne CMI byasalawo okwezza okunoonyereza kwonna poliisi kwe yali ekola ku misango eminene omuli ogwa Kaweesi, Kagezi, ettemu ly’abakazi e Wakiso, obubbi mu bitongole bya Gavumenti n’obubbi bw’emmotoka.

EBYABBIDDWA MU OFIISI

Okusinziira ku nsonda, 'Hard Disk' eyatwaliddwa kwabaddeko ebyama bingi nnyo ebitwalidde ISO ebbanga eddene okubifuna nga ne ssente eziteekeddwaamu zibadde nnyingi ddala.

Mu byatwaliddwa mulimu; okunoonyereza ISO kw’ebadde ekola ku kutemulwa kwa Joan Kagezi eyali omuwaabi wa Gavumenti mu musango gw’abatujju abaatega bbomu e Lugogo ezatta abantu abasoba mu 70 mu July wa 2010, lipooti eraga okunoonyereza ISO kw'ebadde yakakolako ku batta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.

Fayiro endala ezibaddeko kwe kuli okunoonyereza ku mivuyo mu Bbanka Enkulu, Crane Bank, Uganda Telecom, Abatujju n’emirala zonna zaatwaliddwa nga tekimanyiddwa oba ISO yabadde ne kkopi endala ku fayiro zino.

Joan Kagezi yatemulwa nga March 30, 2015 ku ssaawa 1:30 ez’ekiro bwe yali ava ku mulimu ng’adda awaka e Najjeera gye yali asula n’asalawo okuyimirira e Kiwatule okubaako by’agula.

Ekifo awaatemulirwa Felix Kaweesi

Ono yali mu mmotoka ye ey’omulimu Pick Up Double Cabin era wano abazigu abaali ku bodaboda, we baamukubira amasasi agaamuttirawo. Ate Andrew Felix Kaweesi, yatemulwa March 17, 2017 e Kulambiro bwe yali ava awaka ng’adda ku mulimu, naye yali mu mmotoka ye ey’omulimu.

Ono abazigu baamufukirira amasasi agasoba mu 80 agaatwaliramu omukuumi Kenneth Erau ne ddereeva Godfrey Mambewa. Emisango gyombi poliisi yatandika okuginoonyerezaako wabula ne ISO n’esalawo okukola okunoonyereza okwayo.

Poliisi yayoola Abasiraamu abawera be yatwala mu kkooti e Nakawa ku musango gwa Kaweesi ate Kagezi ne gye buli eno, tewali kyali kifuniddwa.

Gye buvuddeko, dayirekita wa ISO, Col. Kaka, aliko omukazi Christine Mbabazi Muhoza gwe yakwata n’amuggalira mu maka ge e Lungujja ku bigambibwa nti alina ky’amanyi ku kutemulwa kwa Kaweesi ekintu ekyaleetawo akakuubagano akamaanyi wakati wa ISO ne poliisi era katono bakubagane amasasi nga poliisi eyagala okuggya Muhoza mu mikono gya Kaka okutuusa eggye erikuuma pulezidenti lwe lyabiyingiramu ebitongole byombi ne babigoba ewa Muhoza.

Kaka yategeeza nti, Muhoza okumukuumira mu makage, baali bamutaasa ku bantu abaali baagala okumutta olw’ensonga nti alina bingi by’amanyi ku lukwe olwalukibwa n’engeri misoni y’okutta Kaweesi gye yatambuzibwamu.

Ekiragiro ekyaweebwa, kyali kiwa ISO obuyinza okusigala ng’ekola ku nsonga za Muhoza wabula omuduumizi wa poliisi mu ggwanga teyamatira n’alagira omuduumizi wa Flying Squad, Herbert Muhangi okukwata abaali bakulidde okusibira Muhoza ewuwe era Ramathan Bukenya ne munne bwe baali baduumira ewa Mbabazi poliisi n’ebakwata n’ebaggalira ku poliisi ya Kampalamukadde n’ebayimbula oluvannyuma lwa Kaka okukuba emmeeza.

BAKUTTE OMU KU BATEBEREZEBWA

Okuva ebyama lwebyabbiddwa, abakulu mu kitongole babadde bakola butaweera okulaba nga bakwata omuntu yenna ayinza okuba nga ye yabbye ebyama byabwe era mu kuyigga omubbi, baakutte omu ku bateeberezebwa Simon Odongo ne bamuggalira mu kifo ekimu ekiddukanyizibwa ekitongole kino.

Ekifo awaatemulirwa Joan Kagezi

Ensonda zaatutegeezezza nti, waliwo bannaabwe ababadde batera okuyingira mu ofiisi zino amatumbi budde nga beefudde abaagala okukebera ku bantu abali ku yintanenti.

Zaagasseeko nti, abakulu kye bateebereza, omubbi ayinza okuba ng'ebisumuluzo bya ofiisi byakolebwamu kkopi oba nga baakozesezza ekiyitibwa 'French Key'.

French Key, kisumuluzo nantalemwa munyolo, si 'master key' wabula French key ate bino bisumuluzo bibale nga bikozesebwa bitongole bya byakwerinda byokka.

“French Keys ntono nnyo, ate ebitongole ebikessi okuli ISO, ESO, ne CMI byokka byebyali biweereddwa French Key ne poliisi baali baazigima naye balabika baafunayo,” ensonda bwe zaatugambye.

Zaategeezezza nti, ebisumuluzo bino tebirina munyolo gwali gukoleddwa mu nsi yonna gwe biremwa kuggula.

KAKA ANNYONNYODDE

Dayirekita wa ISO, Col. Kaka bwe yatuukiriddwa ku ssimu yategeezezza nti, tewali kyamaanyi kye baafiiriddwa n’agattako nti, ebyama byabwe byonna bakyabirina olw’ensonga nti, ofiisi ezabbiddwaamu ebyama si lye lyabadde etterekero ly’ebyama ne fayiro ze banoonyerezaako enkulu.

Yannyonnyodde nti, Cyber Unit ebadde mpya nga yakatondebwawo ate teyali kitundu ku ISO n’ategeeza nti tewabaddeyo byama bingi nnyo.

Yagasseeko nti, okumenyebwa kwa ofiisi zaabwe, yabadde akulabyeko ku mikutu gya yintanenti nti wabula kw'abadde kusavuwaziddwa nnyo n’agamba nti obujulizi n’okunoonyereza kwabwe kwonna bakyakulina mu bulambalamba.

Bwe yavudde ku ssimu, Lt. Col Joseph Ariganyira, omukwanaganya w'ensonga z'ebyobufuzi mu ISO, yakubye essimu n'ategeeza nti ebyama byabwe byonna babirina mu bujjuvu n'agattako nti waliwo abantu be baagobaolw'empisa embi abasaasaanya olugambo.

Yagasseeko nti, bakolera wamu ne poliisi mu kunoonyereza kwonna nti era ssinga waliwo ebyama ebyabbiddwa, ababbi bandibadde bayiggibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...