TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri bamafia gye bavuluze omusango gwa Kaweesi

Engeri bamafia gye bavuluze omusango gwa Kaweesi

Added 17th December 2017

OKUBBIBWA kwa fayiro eriko ebizuuliddwa ku baatemula Andrew Felix Kaweesi tekyagudde bugwi wabula entegeka ezze ekolebwa okuvuluga omusango guno.

 Omugenzi Felix Kaweesi. Ku ddyo, Omukazi Muhooza eyali muninkini wa Kaweesi

Omugenzi Felix Kaweesi. Ku ddyo, Omukazi Muhooza eyali muninkini wa Kaweesi

Ku Lwokutaano nga November 24, fayiro okuli ebyama ebitali bimu naddala ebikwata ku musango gwa Kaweesi yabbiddwa (Laba Bukedde w’Olwomukaaga) okuva mu kitongole kya ISO.

Yadde akiduumira Frank BagyendaKaka yagezezzaako okukkakkanya emitima gy’abantu nti ebyabbiddwa bitono nnyo era bwiino. Kyokka omukugu mu kunoonyereza Fred Egesa agamba nti, ebyabbiddwa ka bibe bito oba bingi eyabibbye yatuukirizza ekigendererwa kye.

Egesa eyaliko mbega mu poliisi oluvannyuma n’abivaamu nga mu kiseera kino yeekozesa yekka mu kkampuni ya Missing Link enoonyereza ku buzzi bw'emisango egitali gimu agamba nti, omubbi wa fayiro teyabadde na kigendererwa kusanyaawo bujulizi kuba amanyi tekisoboka wabula yabadde ayagala kusindika bubaka mu bifo ebitali bimu.

Ekisooka mu bantu baabulijjo, yabadde ayagala kubamalamu maanyi nti ebya Kaweesi tebalizuula yamutta kuba ne fayiro zibbiddwa.

Okunnyonnyola lwa Kaka nakwo kwabadde kusuubirwa kuwulikika kutyo kuba tosuubira aduumira kitongole kwegatta ku bantu baabulijjo kulaga nti embeera ekomye tewakyali kyakukola. Ekyokubiri, eyabbye fayiro eno yabadde ayagala kuteekateeka bantu singa omusango gutwalibwa mu kkooti ogwa Kaweesi, kijja kuba kimanyiddwa nti ebimu ku byali bikuhhanyiziddwa byabbibwa noolwekyo mu ngeri yonna, byonna ebinaaleetebwa bijja kuba tebimala ng’abireese kiringa apanze ebipange.

Kyokka Egesa alowooza nti, singa bambega ba ISO bekuhhaanya bulungi, obujulizi bwonna obwabuze basobola okukomyawo ne bwe buba butono butya kuba fayiro y’omuntu attiddwa, ababa baakola sitatimenti oba osobola okubafuna ne baddamu buto okuggyako nga nabo battiddwa oba okubuzibwawo.

Ekyokusatu, Egesa agamba nti ali emabega w’okubba fayiro zino, yandiba ng’alina obubaka bw’asindka ewa Pulezidenti okwagala okwonoona ekitongole kya ISO ng’amulaga nti ne b'obadde weesiga nabo tebasobola!

Agamba nti embeera y’ebitongole bino okwerwanyisa n’okwesindikamu bambega okutabulatabula emirimu gyabwe bissa ebyokwerinda by'eggwanga munda mu mbeera embi yadde ng’ate omuntu waabulijjo asobola okukifunamu- atya? Nti ebiseera ebiyise, poliisi y’ebadde ekola okunoonyereza okusinga ku misango egitali gimu era nga kyonna ky’ekupaatikako, kiyinza okuba ekizibu okukyeggyako, Kati ebitongole ebirala bwe biyingiramu okukola omulimu gwe gumu, wabaawo ku buweerero.

Kyokka okubbibwa kwa fayiro zino kwegasse ku bintu ebirala ebizze bibaawo bukya Kaweesi atemulwa ebirala nti wandibaawo bamafia abeefunyiridde okulinnyirira omusango guno okugumulamu ssupu n’abantu baguveeko.

Ng’ovudde ku lunkukumuli lw’abantu abazze bakwatibwa ne batulugunyizibwa era bonna ne balagibwa ensi nti be batta Kaweesi, ate n’okusika omuguwa ku mukyala Mbabazi Muhooza wakati wa ISO ne poliisi, abakugu balowooza nti waliwo abali embega w’okumalamu amaanyi n’okubuzaabuza omusango guno.

EBIZZE BIBAAWO MU BITONGOLE BYOKWERINDA

Mu mwaka gwa 2015, ofiisa wa poliisi ASP Steven Mugarura yawandiikira Pulezidenti ekiwandiiko ng’alumiriza boofiisa ba poliisi engeri gye beekobaana n’abamenyi b’amateeka okutulugunya bannansi be bandibadde bakuuma.

Kyokka Mugarura yayimirizibwa ku mulimu n’aggulwako emisango egy’enjawulo era yagenze mu kkooti naye n’awaabira poliisi ng'agivunaana okumuyimiriza ku mulimu mu ngeri emenya amateeka.

Muganda w’omugenzi Kaweesi, ayitibwa Leo Ruhinda yavaayo n’alumiriza nti abatta muganda we baali mu poliisi munda era ye ayagala okunoonyereza kusookere munda mu poliisi nga tebanagenda ku bantu balala.

Gye buvuddeko waabaddewo okusika omuguwa wakati wa ISO ne poliisi ku mukazi muninkini wa Kaweesi, Christine Muhoza Mbabazi, ISO gwe yasibira mu maka ge e Lungujja ng’emulumiriza nti alina ky'amanyi ku kuttibwa kwa Kaweesi.

Poliisi yasindika abaserikale okumununula amasasi ne ganyooka kyokka oluvannyuma ISO yasinza amaanyi era ky’awaliriza ofiisi ya Pulezidenti okuyingira mu nsonga zino okulaba bwe zinaagonjoolebwa nga n’okutuusa kati Mbabazi akyasibiddwa waka takkirizibwa kuvaawo.

AB’EKITONGOLE KYA ISO BANNYONNYODDE

Kyokka ye akulira ekitongole kya ISO, Col. Frank Kaka yavuddeyo n’agumya abantu nti fayiro ezabbiddwa tezikosa kunoonyereza kwe baliko nti era obujulizi obukulu obwetaagisa mu misango gino babulina tewali kijja kulemesa.

Ono yeegattiddwaako omuluhhamya w'ebyobufuzi mu ISO, Lt.Col. Joseph Aliganyira eyalumirizza nti ebintu bino abali emabega waabyo bakozi babiri abaagobebwa ku mirimu olw’empisa embi ne basalawo okugenda nga basaasaanya engambo ku bya fayiro zino kyokka ng’ekituufu kiri nti tewasaanidde kubeerawo bweraliikirivu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....