TOP

Munnawamulire wa New Vision aziikibwa leero

Added 17th December 2017

MUNNAMAWULIRE wa Vision Group efulumya ne Bukedde , Peter Busomoke eyafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu waakuzikibwa ku Mmande e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso.

 Peter Busomoko

Peter Busomoko

Okusinziira ku abadde mukama we, Jimy Adriko, Busomoke waakuzikibwa e Mpeggwe okumpi n’e Naddangira – Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo.

Yasabiddwa mu Klezia ya Our Lady of Fatima esangibwa okumpi n’awabadde amaka ge e Nakulabye mu Kampala.

Busomoke abadde akolera kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde era awerezzaaako mu bitongole by’amawulire ebitali bimu omuli n’ebyebweru wa Uganda nga munnamawulire omukubi w’ebifananyi.

Yakolerako olupapula lwa The Economy olwakufulumizibwa Maj. Kakooza Mutale mu myaka gy’ekinaana.

Busomoko asase amawulire mangi okuli ag’entalo ng’ez’e Congo na wano mu Uganda. Abadde asinga kukolera lupapula lwa New Vision olw’Olungereza wamu n'olwa Bukedde.

Ab’oluganda lwe baagambye nti abadde atawanyizibwa obulwadde bw’ekibumba ne sukaali era yatwaliddwa mu ddwaaliro e Kiruddu ng’embeera mbi okutuusa lwe yafudde.

Waakuziikibwa e Kakiri – Mpeggwa mu disitulikiti y’e Wakiso enkya ku Mmande. Alese abaana n’abazzukulu abawerako.

Busomoke eyazaalibwa e Congo yafuuka Munnayuganda mu 1986, okusinziira ku babadde bamubeera ku lusegere.

Abadde ayogera ennimi okuli Oluganda, Olulingala olw’e Congo, Oluswayiri n’Olungereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...