TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura akyusizza abakulira ebitongole bya poliisi

Kayihura akyusizza abakulira ebitongole bya poliisi

Added 18th December 2017

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale mw’alondedde abakulira ebitongole mu poliisi abapya.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga December 15, 2017 nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura, abaserikale ba poliisi basatu baggyiddwa mu ofiisi mwe babadde ne basindikibwa okukulira ebitongole ebyenjawulo.

Mu nkyukakyuka zino, Gen. Kale Kayihura yalonze SCP Good Mwesigwa okukulira ekitongole ekikwasisa abaserikale empisa ekya ‘Professional Standards Unit’ (PSU) ng’ono yazze mu bigere bya SCP Joel Aguma awerennemba n’emisango mu kkooti y’amagye n’abaserikale abalala.

SCP Mwesigwa eyaggyiddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa okugulira poliisi ebikozesebwa n’okuzimba, Gen Kayihura yamulagidde okusigala nga yeekenneenya emmundu.

Mu balala abaakyusiddwa kuriko CP Fenny Kyomukama ng’ono y’abadde avunaanyizibwa ku kitongole ekirwanyisa obubbi bw’ente ekya ‘Anti Stock Theft Unit’ (ASTU) n’asindikibwa okukulira sitoowa omuterekebwa ebintu ebitali bya bulijjo.

ACP Cohen Arinaitwe yaggyiddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bikwekweeto n’atwalibwa okukulira ekitongole ekirwanyisa obubbi bw’ente.

Gen. Kayihura yalagidde avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu poliisi, Hajji Moses Balimwoyo okulaba ng’abaserikale bava mu ofiisi mwe babadde bakolera bagende gy’abatumye okukolera emirimu mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rev. Namwanja

▶️ Rev. Namwanja abuulirira...

Rev. Amos Namwanja abuulirira abazadde ku ngeri y'okukuza abaana aboobuvunanyizibwa.

Omuntu w'Abantu; Ssanyu akuleetedde Moses Matovu owa Afrigo.

▶️ OMUNTU W"ABANTU; Tukulee...

Moses Matovu owa Afrigo Band akubuulira ekimuwangaza n'akubiriza n'abantu okukola ennyo basobole okuva mu bwavu....

Wakula ng' asembeza Abakrisitaayo mu kusaba.

Omulabirizi wa Central Buso...

OMULABIRIZI wa Central Busoga  akungubagidde abadde Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde...

Omugenzi Ssaabasumba Cyprian  Lwanga.

Mmanyi Lwanga okuva obuto -...

FAAZA Joseph Lugobe owa St. Agnes Kibuye-Makindye y'omu ku baludde ne Dr. Lwanga okuva obuto. Anyumirizza Margaret...

Omugenzi Ssaabasumba

Obubaka bwa Ssaabasumba bwe...

Dr. Lwanga yabadde ategese obubaka bw'okusoma ku Paasika e Lubaga. Bwasomeddwa Viika Genero wa Kampala, Msgr. Charles...