TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bryan White amansamansa ssente bamusindise Nalufenya

Bryan White amansamansa ssente bamusindise Nalufenya

Added 19th December 2017

EBY’OMUGAGGA omuto mu Kampala abadde yeegulidde erinnya mu kumansamansa ssente, Bryan White ng’amannya ge amatuufu ye Brian Kirumira byongedde okwonooneka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura bw’alagidde aggyibwe ku poliisi e Kabalagala atwalibwe mu kaduukulu ka poliisi e Nalufenya.

 Bryan White ng'aggyibwa mu kaduukulu ku poliisi y'e Kabalagala. Mu katono akasooka, omusaayi ogwasangiddwa okuliraana ekikomera kya Bryan White w'agambaibwa okukubira Bituhirwe amasasi. Ate mu katono Bituhirwe ng'ali ku byuma mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gy'akyajjanjabibwa.

Bryan White ng'aggyibwa mu kaduukulu ku poliisi y'e Kabalagala. Mu katono akasooka, omusaayi ogwasangiddwa okuliraana ekikomera kya Bryan White w'agambaibwa okukubira Bituhirwe amasasi. Ate mu katono Bituhirwe ng'ali ku byuma mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gy'akyajjanjabibwa.

Okusinziira ku nsonda mu poliisi y’e Kabalagala, Bryan White yaggyiddwa ku poliisi y’e Kabalagala ku Lwomukaaga n’atwalibwa e Nalufenya mu Jinja ekifo ekimanyiddwa ng’ekkomera ly’abatujju n’abazzi b’emisango egya naggomola.

Kino kiddiridde Gen. Kayihura okuwa ekiragiro aggyibwe ku poliisi e Kabalagala ayongerweyo e Nalufenya ayongere okunoonyerezebwako ku mmundu gye yakozesa okukuba muliraanwa we essasi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima yagambye nti okusinziira ku buzito bw’omusango guno, poliisi yasazeewo Bryan White eyakuba Victor Bituhairwe essasi okumuggya mu kaduukulu ka poliisi e Kabalagala gy’abadde akuumirwa n’atwalibwa e Nalufenya okwongera okunoonyerezebwako n’abalala abaakwatibwa.

Yagambye nti waliwo omuserikale anoonyerezebwaako nga kigambibwa nti yandiba nga ye yamuwa emmundu gye yakozesa okukuba Bituhairwe ali ku kitanda mu ddwaaliro erya IHK e Namuwongo.

Ye omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Frank Mwesigwa yagambye nti poliisi ekyalinze Bituhairwe okussuuka asobole okukola sitatimenti n’oluvannyuma atwalibwe mu kkooti.

Wabula ensonda mu poliisi zaategeezezza nti bye baakafuna mu kunoonyereza biraga ng’emmundu, Bryan White gye yakozesa bw’etali mu bitabo bya poliisi, amaggye wadde ekitongole ky’ebyokwerinda kyonna kuba tekuliiko laama yonna.

Bryan White yakwatibwa mu kiro ekyakeesa nga December 14, oluvannyuma lw’okukuba muliraanwa we, Bituhairwe wabweru w’ekikomera kye e Buziga essasi n’akwatibwa poliisi n’atwalibwa ku poliisi e Kabalagala gy’abadde akuumirwa.

BRYAN WHITE GWE YAFERA ASITUDDE ENKUNDI:

Oluvannyuma lw’amawulire g’okukwatibwa kwa, Bryan White okusaasaana ng’akubye muliraanwa we, Victor Bituhairwe amasasi, omusajja gwe yafera n’amusingira ennyumba etali yiye asitudde enkundi, ayagala amuddize ssente ze ng’amuteereddemu n’amagoba.

Ismael Muyinda omutuuze w’oku Lubaga Road mu Kisenyi y’asitudde olutalo n’agenda ne ku poliisi eya Kampalamukadde ne CPS mu Kampala okuddamu okuzuukusa fayiro ye gye yaggulawo nga Brian White yaakamubba.

Muyinda yagambye nti, yalina edduuka eritunda ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo mu biseera we yamanyira Bryan White ye gwe yali amanyi nga Brian Kirumira.

Agamba nti, yali muvubuka eyali omukujjukujju ng’abeera kumpi ne we yali akolera ne bafuuka bamukwano.

Mu kiseera ekyo wakati wa 2005 ne 2010, Brian white yali akola emirimu mingi naye nga gw’asinga okubeeramu ennyo, gwa kuyisa bivvulu bya mwenge okwetooloola Kampala.

Mu nkolagana gye baalina, nga April 27, 2008, yasooka n’amwewolako 1,000,000/- ng’ayita mu mukwano gwe Omusomaali Hykhan Ali era ssente ne bazimuddiza mu lunaku lumu ng’amuteereddemu n’amagoba ga 500,000 era ne bakituukiriza.

Muyinda yagambye nti, teyamanya nti kano kaali kanyeebwa ka kumusuula mu katego ka Kirumira ye nga bwamuyita.

Nga wayise omwaka, agamba yaddayo n’amutuukirira amuwole 12,000,000/- ng’amutwalidde n’endagaano y’ennyumba eri e Namasuba mu Kikajjo.

Endagaano yali eraga nti, ennyumba yali ya Jesica Muwanguzi n’agiguza Hykhan Ali, ssente 35,000,000/- era nga yali yazimuwa mu kaasi nga September 29, 2007.

Muyinda yategeezezza nti, yakola okunoonyereza n’akubira abantu bonna abaali ku ndagaano amasimu nga bamugamba kimu, ennyumba Kirumira ye nnannyiniyo. Endagaano yali eraga nti baagikoledde mu ba looya mu Kampala.

Agamba nti, yakwata ssente n’aziwa Kirumira nga wakuzimuddiza mu myezi esatu bwe kirema atwale ennyumba ne poloti wabula okuva lwe yazimuwa, teyaddamu kumulaba n’amasimu gonna ge baateeka ku ndagaano nga tegakyayitamu.

“Ssente ze nnamuwa gwe gwali omutima gwa bizinensi yange era awo we natandikira okuggwaamu edduuka ne ligwa.” Muyinda bwe yategeezezza.

Yagambye nti, yagenda okutuuka ku nnyumba gye yali amusingidde nga n’abagirimu tebamanyi Kirumira nga n’abakulembeze b’ekyalo nga tebamumanyi n’agwaawo ekigwo.

Yagambye nti, yagenda ku poliisi ya CPS n’aggulawo omusango SD 03/25/06/2007 Kirumira ne bamukwata n’asooka amwegayirira amusonyiwe anoonye ssente ze azimuddize nti kyokka bwe baamuta, teyaddamu kumulaba, yazzeemu okumulaba ng’amansa ssente mu mabaala nga n’amannya ye yita malala (Bryan White).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono