TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Swengere Family basabuukuludde ettu lya Ssekukkulu

Aba Swengere Family basabuukuludde ettu lya Ssekukkulu

Added 19th December 2017

IBANDA Muyonjo, mukyala we Maama Kalibbala ne mutabani waabwe Kalibbala abeegattira mu Swengere Family obadde obalaba ku Bukedde TV n’obuzannyo bwabwe obw’Olusoga. Kati ogenda kubalaba layivu mu nnaku zino enkulu.

Aba Swengere nga bazannya ku Theatre Labonita omwezi oguwedde

Aba Swengere nga bazannya ku Theatre Labonita omwezi oguwedde

BYA MARY NAMBWAYO

OLUVANNYUMA lw'abazannyi ba Swengere okusanyusa abantu ba Labonita nga 24 November, we baazannyira komedi atayawula muto na mukulu kati ate ku luno  basabuukululidde abawagizi baabwe ettu lya Ssekukkulu.

Bano bakomezzaawo ekivvulu kyabwe ekya ‘Swengere Family Tour 2017’ nga ku mulundi guno 'show' bagitutte ku Hut Gardens e Mbale nga 23 December, ate ku 31 bamalire ku Satelite beach e Mukono nga bayingira omwaka n'abawagizi baabwe.

Swengere ne banne basuubizza ekyenjawulo mu mizannyo gyabwe ku ndaga zino ebbiri ezisembayo.

Bano bagenda kuwerekerwako abayimbi okuli; Sheebah Karungi ne Mr. World.

Aba Swengere nga bazannya ku Theatre Labonita omwezi oguwedde

Obumu ku buzannyo bwabwe bwe bazannye bw'otasaanye kusubwa:

Lumu Kalibbala yasanga mmotoka ya kitaawe Swengere nga yenyeenya n’adduka ayite maama we ng’alowooza alimu n’omukazi omulala. Maama we yajja n’ejjambiya kyokka Swengere agenda okuggulawo ng’omuziki gwe gunyeenya emmotoka n’aswala.

Olulala Kalibbala yali akola ‘home work’ nga bamubuuzizza okuwandiika ebintu eby’enjawulo mw’oyinza okuggya amazzi. Taata we Swengere  eyali yamugamba nti ye yali asinga mu kibiina yamuddamu firiigi na nsuwa ne bamusekerera.

Swengere yawakana ne neyiba we ng’amutendera omwana we okuba nga y’asinga obusiru. Okukakasa kino yayita Kalibbala n’amutuma mu nnyumba alabe oba taata we gyali.

Kalibbala yadduka za mbwa n’ayingira era olwadda n’amutegeeza nti taliiyo. Swengere kwe kutegeeza neyiba nti ekyana okirabye, oba neyiba ye yakizaala?

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...