
Ab’oludda oluvuganya baagambye nti olubimbi lwabwe olw’okulwanyisa akawaayiro akawa Pulezidenti Museveni ekyanya okuddamu okwesimbawo mu 2021 baalulimye kati kiri eri Bannayuganda okusalawo ekiddako.
Mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala, ab’oludda oluvuganya abaakulembeddwa alukulira mu Palamenti, Winnie Kizza baagambye nti batandise kaweefube omupya ow’okulwanyisa ensonga zino gwe batuumye ‘’k’ogikutteko’’ era baagala Bannayuganda babalage ekiddako.
Bagamba nti kampeyini eno y’egenda okubaamu kiki ekiddako oluvannyuma lw’akawaayiro akaggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okuyisibwa era ne basaba Bannayuganda okusalawo ekiddako.
Baagambye nti bagenda kusigala nga bawakanya embeera eno era ‘’ompuiira’’ bagutadde mu ngalo za Bannayuganda okusalawo ekiddako.
Era ne bagamba ababaka abaali ku ludda oluvuganya gavumenti nga Beatrice Anywar okusalawo okuwagira ebya Pulezidenti Museveni okugenda maaso bajja kukyejjusa.