TOP

Bannaddiini balumbye ababaka ba Palamenti

Added 24th December 2017

BANNADDIINI bagugumbudde ababaka ba Palamenti olw’ennoongosereza ze baakoze mu Konsitityusoni ne baggyamu ekkomo ku myaka gya Pulezidenti nabo ne beeyongeza emyaka emirala ebiri ku kisanja kyabwe.

 Omulabirizi Henry Katumba Tamale. Ku ddyo, Omusumba John Baptist Kaggwa

Omulabirizi Henry Katumba Tamale. Ku ddyo, Omusumba John Baptist Kaggwa

Omusumba w'essaza ly'e Masaka John Baptist Kaggwa yagambye kikyamu palamenti okuyisa amateeka mu ngeri ey’Obwannakigwanyizi ng’ababaka bagenderera okutuukiriza ebigenderwa byabwe .

Yategeezezza nti Konsitityusoni y’eggwanga yakyuusiddwa mu ngeri ey’ekipantiira olw’abamu ku Bannabyabufuzi abaagala batuuke ku byebeegwanyiza mu kifo kyokulumirira ababalonda.

Bino byabadde mu bubaka bw’omusumba obw’amazaalibwa bwe yaweredde mu makaage agasangibwa e Kitovu mu divizoni ya Nyendo Senyange mu disitulikiti y'e Masaka.

Omusumba Kaggwa yeegasse ku Ssaabasumba John Baptist Odama eyalumbye ababaka ba Palamenti n’abalangira n’omugulube olw’okukyusa mu Konsitityusoni okutuukiriza ebigendererwa byabwe nga Bannabyabufuzi Kaggwa yategeezezza nti kyakabi nnyo abakulembeze okwefaako bokka ne balemwa okuweereza abantu Katonda be yabatuma okumukulembererako n'agamba nti kino kifudde eggwanga okuba 'ekyobugagga' ky’abantu ab’olubatu.

Yategeezezza nti ekyakoleddwa ababaka kwabadde kubuuka ensalo z'obuyinza bw’abantu bwe baabawa ne batuuka n’okutaganjula Konsitityusoni nga bwe baagala ne beeyongeza n’ekisanja n’agamba nti ekyo, kiraga okulya olukwe mu baabatuma okubatwalira ebirowoozo byabwe mu Palamenti.

Kaggwa yannyonnyodde nti ababaka yonna gye babadde bagenda nga beebuuza ku balonzi babadde babagamba kaati nti tebageza ne bakwata mu Konsitityusoni naye ebyabadde mu Palamenti biraga nti baavudde mu birowooza by’abalonzi abaabatuma.

Yagambye nti eggwanga terisobola kulwanyisa buli bwa nguzi, ng’ababaka bennyini bannakigwanyizi n’agattako nti tetusobola kutuuka ku mazima n’ekituufu nga tutambulira mu bya 'Yuda Iscariot'.

Yasabye wabeerewo okuwulizigganya mu bukkakamu ne mu mazima era n'alaga nti Bannayuganda baggwamu essuubi olw’ebitongole bya Gavumenti ebitakyakola ebyo bibisuubirwamu.

Omulabirizi wa West Buganda, Rt Rev Henry Katumba Tamale yategeezezza nti ebyabaddewo mu Palamenti biwuniikiriza era ebyafaayo bijja kwogera bubi ku babaka abaabikoze Bp Katumba yagambye nti kijja kutwala ebbanga ddene okuzza emitima gya Bannayuganda kuba Palamenti kye yasazeewo okutogonyola Ssemateeka kyalese bangi nga banyogoze.

Obubaka bwe obw'amazaalibwa yabuweredde mu makaage agasangibwa e Kako era okusinga essiira yalitadde ku bantu abatandise okubundabunda mu nsi yaabwe nga bagobaganyizibwa ku ttaka.

Yategeezezza nti omululu gususse, tewakyali kuwa bantu kitiibwa era nga kino kyeyolekedde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kyokka ng’abanaku abandibadde babaako we batebenkera abantu abatalina nsa batandise okubasindikiriza babagobe ku ttaka we bamaze ebbanga.

Yayanjudde enteekateeka y’omwaka 2018 nga ekkanisa essira ekyalitadde ku maka amatebenkevu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.