
Bishop Kiganda ng'abuulira ku kusonyiwagana n'okuwanga abantu omukisa ogw'okubiri olwaleero ku ssekukkulu
BISHOP David Kiganda alabudde bannayuganda okukomya okusiba obusungu ku mitima n’abasaba okuwaayo abantu omukisa omulala okwetereza singa baba bakoze ensobi .
Kiganda okwogera bino abadde abulira olwaleero ku Ssekukkulu mu kkanisa ye eya Christianity Focus Centre Mengo mu Kisenyi mu Kiganda zooni.
Kiganbda agambye nti abantu bangi balina obusoboozi okukola ebintu ebiyamba eggwanga naye tebaweereddwa mukisa gwa kubiri ng’omuntu bwakola ensobi taweebwayo mukisa mulala kulongoosa kye kyagambye nti kikyamu .
Bishop agenze mumaaso n'ategeeza nti ku luno okusaba kwa 31 December kugenda kubeera ku ssomero lya Old Kampala mu kisaawe nga kino kyavudde ku kuzimba ekisaawe ky’e Nakivubo awabadde wabeera okusaba buli mwaka okuba nga
tekinamalirizibwa