TOP
  • Home
  • Agawano
  • Anaanywa omwenge kola bino obutakuyisa bubi

Anaanywa omwenge kola bino obutakuyisa bubi

Added 25th December 2017

SSEKUKKULU lwe lunaku abantu lwe basinga okulagirako essanyu okwetooloola ensi yonna era wano buli omu akola ky’asobola okulaba ng'afuna essanyu. Abantu bakola ebintu ebitali bimu omuli n’okunywa omwenge era bangi bagutandika ebulayo wiiki nnamba kuba bangi babeera mu ggandaalo nga tebakola.

 Omwenge gunywe ng’omaze okulya. Ennyama lya ya masavu

Omwenge gunywe ng’omaze okulya. Ennyama lya ya masavu

Kino kivaako bangi okulwala olw’okunywa ekisusse ate famire zaabwe ne baziremesa okunyumirwa ennaku enkulu. Bangi batemagana embale, abafumbo bayombagana ne batuuka n’okwawukana, abalala basibwa n’abamu okufa nga kivudde ku ttamiiro.

OBULABE OBULI MU KUNYWA OMWENGE OGUSUSSE

Dr. Steven Mukasa ow’eddwaaliro lya St. Vincent Hospital, Mengo yagambye nti:

1 Omwenge gwokya ekibumba. Buli lwe gusukka mu mubiri, gwokya akabubi akabeera ku kibumba kungulu ne kavaako olwo ne kiddugala n’okufuna amabwa.

2 Guleeta amabwa mu kamwa. Buli omwenge lwe gusukka mu lubuto, gukuba amabwa mu byenda agajja nga gatambula okutuuka mu mumiro ne gatuuka ne mu kamwa.

3 Gutta obwagazi bw’okulya emmere kino ne kivaako omuntu okukogga.

4 Obwongo okwonooneka. Omuntu bw’asussa okunywa omwenge obwongo bukosebwa olw’omubiri obutafuna biriisa bye gwetaaga byonna, obutaba na mazzi gamala olw’omwenge okugakamula ate nga tebatera kuganywa n’ebirala ekivaako okutabuka n’okukola ebitakwatagana.

5 Endwadde nnyingi naddala ez’obukaba omuli ne siriimu zeegiriisiza mu banywa omwenge olw’okuba obwongo bubeera bukyuseeko nga kyangu okumala geegatta mu bikolwa ebyomukwano n’abantu be batamanyi bwe bayimiridde.

ENGERI GY’ONYWA OMWENGE N’OTOFUNA BUZIBU

Dr. Jamiru Mpiima okuva mu Family Nutritionist Uganda ku luguudo lw’e Bombo nga mukugu mu byendiisa alaga engeri gy’osobola okwetangira omwenge okukukosa.

1 Nga tonnanywa mwenge sooka olye emmere okkute guleme okwokya ebintu eby’omunda ng’ogunywedde olubuto lukalu naddala okuleeta amabwa. Ekirala kikuyambako okukendeeza ku bungi bw’onywa kuba olubuto lubeera lukkufu.

2 Gutta obwagazi bw’emmere n’owulira nga toyagala kulya ekivaamu omuntu okukogga ekikosa omubiri, ate nga bongera okunywa.

3 Anywa omwenge, wettanire emmere ezimba omubiri omuli amagi, enkoko, ebijanjaalo, ennyama emmyufu, ebyennyanja n’ebirala. Kibeera kirungi n’ebeera ya masavu nnyo. Kino kiyamba omubiri obutakosebwa nnyo butwa buli mu mwenge ne gusigala nga gukola bulungi emirimu gyagwo. Lya nnyo ebibala olwa Vitamiini C ssaako enva endiirwa ez’ekika kyonna.

4 Nywa nnyo amazzi okukuuma omubiri nga muweweevu kiyambe n’okutambuza ebiriisa obulungi okubituusa mubuli kitundu ky’omubiri. 5 Weewale okugattika ebika by’omwenge ebingi kuba buli kimu kirina obukambwe n’obulabe bwakyo obw’enjawulo nag bw’obigattika oyongera ku bulabe bw’ofuna. Atasobola kwebeera kunywa ku mwenge, koma ku ccupa bbiri bw’obeera musajja, ate omukyala koma ku ccupa emu.

Afunye ‘hangova’ kola bino

  • Nga tonnaba kwebaka, lya emmere kuba eyambako mu kusaabulula omwenge n’okukendeeza emisinde kwe guyingirira mu musaayi.
  • Kaawa si mulungi kuba ayongera okukaza omubiri gwo ate nga n’omwenge gunyunyunta amazzi.
  • Togeza okumira eddagala erikkakkana obulumi naddala aspirin kuba ayongera okuyubula akasusu k’omu lubuto.
  • Nywa amazzi mu bungi gajungulule omwenge mu musaayi.
  • Tokola dduyiro ng’onywedde omwenge kuba ayongera okukukamula ate nga n’omwenge gunywa amazzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.