TOP

Agambibwa okubba embuzi bamukubye ne bamutta

Added 26th December 2017

ABATUUZE b'e Sagazi - Lugazi batwalidde amateeka mu ngalo bwe bataayizza omusajja ateeberezebwa okubba embuzi ne bamukuba emiggo ne bamuleka ng'ataawa ne bamalamu omusubi.

Poliisi ng'etwala embuzi ku Poliisi

Poliisi ng'etwala embuzi ku Poliisi

Bya Mukasa Kivumbi  

Omusajja ono atannategeerekeka mannya oluvannyuma poliisi ezze n'emuggyawo ne bamutwala mu ddwaaliro e Kawolo gy’afiiridde.

Abamu batuuze baategeezezza nti baamusanze ekiro ku ssaawa 9 nga asikaasikanya embuzi ssatu omulundi gumu ne bamubuuza wa gy'atwala embuzi ekiro ekyo era z'ani, olwo n'abaddamu nti zize azitwala Lugazi kuzitunda yeefunire ekigulira Magala eddiba.

Oluvannyuma lw'okumukazaakaza ennyo yabategeezezza nti mutuuze w’e Namataba  nga n’olumu abeera Namawojjolo kwe kumubuuza ekyamuyisizza e Lugazi nga wano yabadde ayolekedde Mabira n'atamattama olwo ne bamukkako ekiyiifuyiifu ne bamukuba nga bagamba nti teri kubuusabuusa, mubbi awedde emirimu!.

Bwe baamaze ne bamwambula ne bamukumako omuliro kyokka ne gutamwokya nnyo olwo ne bamulekawo ng'aboyaana n'obulumi ne badduka.

Poliisi yakedde n'etuuka we baakubidde agambibwa okuba omubbi n'emusanga ng'akyalimu akassa kyokka nga tasobola kwogera bulungi ate nga avaamu omusaayi mungi ne bamuddusa mu ddwaaliro e Kawolo gye yafiiridde.

Oluvannyuma abatuuze baalagiridde Poliisi embuzi we zaabadde zisibiddwa ne ziggyibwawo ne zitwalibwa ku poliisi e Lugazi.

Poliisi yabadde ekyalemeddwa okutegeera nnannyini mbuzi nga kino kyavudde ku bantu abenjawulo abazze nga buli omu agamba nti embuzi zize ne balagirwa buli omu  okuddayo ku kyalo aleete obukakafu okuli abantu abamanyi nti embuzi zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...