TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte 45 ababadde bazina n'okulaba ekimansulo e Naminya - Buikwe

Poliisi ekutte 45 ababadde bazina n'okulaba ekimansulo e Naminya - Buikwe

Added 27th December 2017

POLIISI y’e Njeru eyodde abantu 45 abaasangiddwa mu bbaala nga beenyigidde mu bikolwa ebigambibwa nti byabadde byesittaza.

 Abamu ku baakwatiddwa nga bazina ekimansula e Naminya - Buikwe

Abamu ku baakwatiddwa nga bazina ekimansula e Naminya - Buikwe

Bano baabadde ku bbaala ya ‘WhatsApp’ esangibwa e Naminya mu divizoni y’e Wakisi mu disitulikiti y’e Buikwe.

Poliisi okuzingako ebbaala eno ng’eri n’abakulembeze b’ekitundu, yasoose kutemezebwako nga bwe mwabaddemu abazina ekimansulo n’ebirala.

Abakwate baasangiddwa bazina ‘kimansulo’ nga kumpi bali bute.

Christopher Ruhunde aduumira poliisi y’e Njeru yategeezezza nti abasajja baliko bana bokka ng’abasigadde 42 bakyala n’abaana abato abali wakati w’emyaka 14 -17.

Abakwate baategeezezza nga bwe batalina musango gwonna nti era bbo babadde beeriira ku ssente zaabwe.

Poliisi era eriko ennyumba ku kyalo Namuwaya mu divizoni y’e Njeru gye yazinzeeko ebadde ekozesebwa ababbi.

Muno mwasangiddwaamu ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe okuli emizindaalo, ebidongo, obugaali, emifaliso, emmeeza n’ebissi okuli amajambiya n’essasi ly’emmundu ekika kya AK47.

Bino byonna bikuumibwa ku poliisi y’e Njeru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...

Kamuze ng’aziikibwa.

Owa LDU asse omutuuze lwa k...

ABAVUBUKA abaabadde batambula mu ssaawa za kafiyu, owa LDU abakubyeemu amasasi ne gakwatako omu n'afa. Ivan...