TOP
  • Home
  • Agawano
  • Maama w'omwana omubbi akwatiddwa n'aggalirwa

Maama w'omwana omubbi akwatiddwa n'aggalirwa

Added 27th December 2017

POLIISI ekutte omuzadde n’emuggalira ne mutabani ng’emulanga kumuwolereza buli lwakwatibwa mu bumenyi bw’amateeka.

 Kawooya ne nnyina (ku ddyo) abaakwatiddwa ne baggalirwa

Kawooya ne nnyina (ku ddyo) abaakwatiddwa ne baggalirwa

Kino kyaddiridde abatuuze okumulumiriza nti alina ky’amanyi ku by’omwana we okubba abantu n’okubakuba.

Kulusumu Nampewo 37, omutuuze we Kyebando mu Katale zooni ng’atunda wooteeri ewa Mambule yakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe.

Yalumiriziddwa okubaako ky’amanyi ku bumenyi bw’amateeka obukolebwa mutabani we Brian Kawooya 17 amanyiddwa nga Tawuki azze akwatibwa enfunda ez’enjawulo ku misango egitali gimu okuli okukwata abantu obubadiya n’okukuba obutayimbwa.

Kawooya yakwatiddwa oluvannyuma lw’abatuuze okumulonkoma nga bw’abamazeeko emirembe okubatulugunya ekiro.

Ng’atuusiddwa ku Poliisi, nnyina Nampewo olwagenzeeyo okumutwalira emmere, abatuuze we baatemerezza ku baserikale nti Nampewo alina ky’amanyi ku bumenyi bw’amateeka obukolebwa mutabani nabo ne bawalirizibwa okumukwata.

Akulira poliisi y’oku Kaleerwe, Isaac Ongom yategeezezza nti mu kusooka abaserikale baakwatanga mutabani we n’ayombagana nabo ng’amugaanira nti si mubbi.

Nampewo yategeezezza nti olw’okuba ku Poliisi akimanyi tebagabaawo emmere yabadde atwalidde mutabani we mmere abaserikale ne bamukwata.

Yagasseeko nti alina abaana mukaaga naye mu bonna Kawooya ye mubbi era azze amubuulirira akyuse. Kawooya yakkirizza nti yali mubbi naye bwe yatwalibwa mu kkooti n’asalirwa yabonerera n’ava ku bubbi.

Moses Mulindwa omu ku batuuze yategeezezza nti emirundi gyonna Kawooya gyakwatiddwa n’atwalibwa mu kkooti, nnyina we Nampewo y’abadde amweyimirirayo.

“Kati poliisi bw’eba emukutte, kirungi twagala akkirize nti omwana we mumenyi w’amateeka,” Mulindwa bwe yategeezezza.

Ongom wano we yasinzidde n’ayongera okukkaatiriza nti ekimu ku bisibye obumenyi bw’amateeka mu Kaleerwe be bazadde abatakkiriza nti abaana baabwe bakyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....