TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubbi awaddeyo emmundu gye beeyambisa okubba n'asaba bamute alye butaala

Omubbi awaddeyo emmundu gye beeyambisa okubba n'asaba bamute alye butaala

Added 27th December 2017

OMUVUBUKA Isma Tuwijukye alaze abaserikale we baatereka emmundu gye babba ku mukuumi w’ekifo ky’amazzi e Matugga.

 Ongom ng'akunya Isma Tuwijukye ku by'emmundu eyazuuliddwa

Ongom ng'akunya Isma Tuwijukye ku by'emmundu eyazuuliddwa

Mu August w'omwaka guno ababbi baalumba Matugga ne bamenya amayumba ne banyaga abantu, oluvannyuma baakwata omuserikale wa Securiko Isaac Onyoro eyali akuuma ekifo ky'amazzi e Matugga ne bamubbako emmundu.

Poliisi yawalirizibwa okusiba Onyoro n’ekwata n’omuvubuka ayitibwa Iga ng’ono ali Luzira.

Iga ng’amaze okukwatibwa yayogera be yali nabo mu bubbi wabula abamu baali bategedde nti, byonoonese ne badduka nga ku bano kuliko Rogers Tuwijukye.

Tuwijukye yakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe n’emukwasa ey’e Matugga n'ayogera we baakweka emmundu era baagisanzeewo n'amasasi asatu.

Tuwijukye ng’amaze okulaga abaserikale emmundu yasabye abaserikale bamusonyiwe kuba tabamalidde budde n'ayogera emmundu w'eri.

Emmundu gye babadde bakozesa okubba

Tuwijukye abadde yaddukira Hoima ng’okumukwata yabadde akomyewo ku Kaleerwe mu Kibe Zooni mwe yalina ekirabo ky'omwenge.

“Nababuulidde nti okuntwala e Nalufunye waakiri mbalaga emmundu w'eri era ngibalaze nsaba munsonyiwe kubanga simanyi bwe bagikuba okuggyako Iga gwe mwasooka okukwata ye agimanyi.

Munoonye ne Rogers abeera ku Kaleerwe ng’asinga kutuula mu bibanda bya firimu", Tuwijukye bwe yayogedde ebyama byabwe.

Abatuuze mu muluka gwa Makerere III e Kawempe baategeezezza nti, Tuwijukye amaze ekiseera ng’alina ekibinja ky’abavubuka nga balina emmundu ezisoba mw'emu ne basaba poliisi okumulemerako.

Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF:06/10/08/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite (ku ddyo) ng’atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono. Mu katono ye Nakiguli eyattiddwa.

Eyatemudde mukwano gwe n'am...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganzi we mu bizinga by’e...

Halima Namakula.

Halimah Namakula awakanyizz...

Omuyimbi Halimah Namakula si mumativu n'ebyavudde mu kulonda omubaka akiikirira abakadde b'omu Buganda n'alumiriza...

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...

Biden n'embwa ye.

Biden aleese embwa ze mu Wh...

JOE Biden 78, akomezzaawo akalombolombo ka bapulezidenti ba Amerika ne ffamire zaabwe okubeera n'embwa oba ebisolo...