TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Aba Munisipaali y'e Nansana batabukidde Paasita Bugembe lwa kumenya kkanisa nga tafunye lukusa

Aba Munisipaali y'e Nansana batabukidde Paasita Bugembe lwa kumenya kkanisa nga tafunye lukusa

Added 28th December 2017

PASITA Wilson Bugembe amenye ekkanisaye eya Light the World Church esangibwa e Nansana aba munisipaali ne bamutabukira olw’obutasooka kufuna lukusa lwa Gavumenti lumukkiriza.

 Paasita Bugembe ku kkono ng'ayogerako n'omu ku bakwasisa amateeka ku munisipaali y'e Nansana abaabadde bamuyimiriza obutamenya kkanisa nga tamaze kufuna lukusa. EBIFAANANYI BYA ROGERS KIBIRIGE

Paasita Bugembe ku kkono ng'ayogerako n'omu ku bakwasisa amateeka ku munisipaali y'e Nansana abaabadde bamuyimiriza obutamenya kkanisa nga tamaze kufuna lukusa. EBIFAANANYI BYA ROGERS KIBIRIGE

Akwasisa amateeka ku kitebe kya Munisipaali y’e Nansana, Jackson Tumusabe ng’akolera ku biragiro by’avunaanyizibwa okuteekerateekera ettaka n’ebizimbe ku munisipaali y’e Nansana, Simon Kiguli yayimirizza Paasita Bugembe obutagenda mu maaso na kumenya kkanisa nga bamuvunaana obutaba na lukusa.

Tumushabe yategeezezza nti mu nkola ey’amateeka Paasita Bugembe yabadde alina okusooka okugenda ku kitebe kya munisipaali n’abeebuuzaako ne bamuwa olukusa olumukkiriza okumenya ekkanisa ng’amaze n’okubalaga pulaani y’ekkanisa empya gy'agenda okuzzaawo, omuwendo gw'abakozi b'agenda okukozesa ne bamuwabula n’engeri gy’alina okumenyamu obutakosa baliranwa be.

Abazimbi nga bamenya ekkanisa ya PAasita Bugembe e Nansana.

Yanyonnyodde nti tebayinza kukkiriza bagoberezi ba Paasita Bugembe kwetaba mu kumenya kkanisa nga tebalina bikofiira bya ku mutwe na byambalo bibabikka bulungi ebisobola okubataasa obutafuna buzibu ng’ebintu bibagwiiridde okuli n’abaana abato.

Abagoberezi ba Paasita Bugembe baavudde mu mbeera ne batabukira Tumushabe ne banne nga bagamba nti yabadde atyoboola omusumba waabwe bwe yatuuse n’amuyita erinnya lya Bugembe nga tataddeko kitiibwa kye kye baagambye nti tebasobola kukiguminkiriza muntu kuyisa mu musumba waabwe maaso nga balaba.

Abazimbi nga bamenya ekkanisa ya PAasita Bugembe e Nansana.

Paasita Bugembe yeetonze n’ategeeza nga bw'abadde takimanyi nti omuntu okumenyawo ekkanisa alina kusooka kufuna lukusa kuva ku kitebe kya munisipaali era n’ategeeza nti kino kibadde kyakuyiga gy'ali era n’asaba abavunaanyizibwa okusomesa abantu amateeka agakwata ku kuzimba bangi ge batamanyi.

Yategeezezza nti amenyawo ekkanisa okusobola okulongoosa ekifo kyonna wakati mu kwetegekera okusaba kw’okwebaza Katonda olw’okuyisa abantu mu mwaka gwa 2017 n’okwaniriza omwaka omupya okugenda okubeerawo mu ekiro nga December 31 okusuubirwa okwetabwamu enkumi n’enkumi z'abakkiriza.

Abagoberezi nga bayambako ba abazimbi okumenya ekkanisa ya Paasita Bugembe e Nansana.

Yagambye nti batandise enteekateeka z’okuzzaawo ekkanisa empya eri ku pulaani ey’omulembe gy'aludde ng’agamba abantu era ng’eno egenda kuzimbibwa ku ttaka lye bazze bagula ku baliranwa baabwe ng’erina ne paakingi ya mmotoka emala abakkiriza bakomye okusimba mmotoka ku luguudo.

Bino we bijjidde nga munisipaali y’e Nansana yayisa ekiragiro ng’eyagala amakanisa g’abalokole gonna gazimbibwe mu ngeri ey’omulembe nga tegafulumya maloboozi kuwowogganira batuuze era nga galina n’okuba ne paakingi ya mmotoka zibe nga tezisimbibwa ku nguudo kuba kisobola okuvaako obubenje n'abantu ne bafa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...