TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Bagenero ba North Korea Amerika ebataddeko obuwumbi 72,000

Bagenero ba North Korea Amerika ebataddeko obuwumbi 72,000

Added 28th December 2017

WASHINGTON BAGENERO babiri aba North Korea, Kim Jong un kw’asibidde olukoba olw’amagezi agabeesera mu kuyiiya ebyokulwanyisa ebya nukiriya ne mizayiro, Amerika ebataddeko obutitimbe bwa ssente eri omuntu yenna anaabakwata oba okubatta.

Kim Jong-sik ne Ri Pyongchol be basajja abali emabega w’okuweesa bbomu eza nukiriya ne mizayiro ez’ekika kya ‘Intercontinental Ballistic Missile [ICBM] omuli eyitibwa Hwasong-15, North Korea gye yaakasembayo okugezesa ne kikakasibwa nti esobola okukuba mu Amerika.

Buli omu ku bagenero abo assiddwaako doola obukadde kkumi (eza Uganda buwumbi 36,000) eri omuntu anaabakwata oba okubatta era ebifaananyi byabwe byassiddwa ku lukakala lw’abamenyi b’amateeka abayiggibwa Amerika.

Nga tebannasibwa ku lukalala olwo, ekitongole ekya Amerika ekya US Treasury kyabatadde ku lukalala lw’abantu abatalina kulinnya kigere mu Amerika, okukolera bizinensi oba omuntu oba kkampuni yonna mu Amerika okukolagana nabo.

Basajja bombi, Kim Jong un abeenyumirizaamu era bwe yakoze omukolo ggaggadde ogw’okukuza n’okwambaza ennyota ba Genero be ne bannassayansi abaayiiyizza n’okuweesa ebyokulwanyisa ebya nukiriya, be basoose ku mwanjo mu kwambazibwa ebitiibwa Ku mukolo ogwo, Kim Jong un yakuzizza bannamagye ab’oku ntikko 17 gattako ne bannassaayansi 21 nga bano baaweereddwa emidaali egisingayo ekitiibwa mu North Korea egya; Order of Kim Il Sung ne Order of Kim Jong Il, nga Kim Jong un abasiima olw’obuyiiya, n’obuzira.

Ekitongole kya Gavumenti eky’amawulire ekya KCNA kyategeezezza nti ng’oggyeeko okubawa ennyota, emidaali n’ebitiibwa ebirala, bagenero ne bannassaayansi baagonnomoddwako emmotoka, amayumba ne ssente enkalu buli omu Kim Jong un n’amusika mu mukono ng’agamba nti obuyiiya bwabwe bwe bufudde North Korea ky’eri kati nga ne Amerika egitya.

Mizayiro Hwasong-15, empya ttuku, bannassaayansi ba North Korea gye baamaliddeko amagezi esobola okuva mu North Korea n’ekuba awantu wonna w’eyagala ku lukalu lwa Amerika yagezeseddwa ku nkomerero ya November.

Hwasong-15 y’emu ku bika bya mizayiro za North Korea ezigwa mu ttuluba erya ‘Intercontinental Ballistic Missile [ICBM] nga mu kugigezesa yakubiddwa okuva ku kitundu eky’e Kusong ekisangibwa mu bukiikakkono bw’ekibuga ekikulu Pyongyang.

Mizayiro eno Hwasong-15 olwa situse ku ttaka ng’ekimyanso, yasoose kutuumbiira mu bire 4,475 km (ze mayiro 2,800) n’eryoka etolontoka miita 950 nga yamaze mu bwengula eddakiika 53 ne yekatta mu guyanja Sea of Japan.

Mu September omwaka guno , North Korea yagezesa bbomu nnamuzisa ey’amaanyi ga nukiriya n’ereeta Musisi ow’amaanyi wa kipimo kya 6.3 eyakankanya North Korea yonna n’awanga ag’omuliraano okuli China, Russia ne South Korea.

Bbomu ya nukiriya eno ekubusaamu emirundi etaano bbomu nnamuzisa eya Atomic bomb, Amerika gye yakuba n’essanyaawo ebibuga bya Japan e Nagasaki ne Hiroshima nga August 9, 1945 n’etta abantu 80,000 mu ddakiika ntono ezaasooka n’oluvannyuma abantu abalala 400,000 ne bafa ate n’okutuusa kati bakyafa endwadde ezeekuusa ku butwa obwanuusibwa bajjajjaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...