
Robert Mugabe
Robert Mugabe bamuwadde akasiimo ka buwumbi 36 zimuyambeko okusigala ng’atambulira mu bulamu obutaliimu buyinike.
Gavumenti ya Emmerson Mnangagwa, eyamuddira mu bigere yasazeewo okuwa Mugabe ssente obukadde bwa ddoola 10 (mu za Uganda obuwumbi 36 n’obukadde 278) ne bamugattirako emmotoka Benzi ssatu ez’ebbeeyi, ofiisi erimu buli kimu, abakuumi n’abakozi 20 okumuyamba ku mirimu.
Gen. Constantino Chiwenga eyakulira abaawamba Mugabe, yabadde alayizibwa ku Lwokuna, n’ebirungi bye bagenda okuwa Mugabe ne byanjulwa era ne bikubwa mu lupapula lwa Gavumenti ya Zimbabwe oluyitibwa The Herald.
Gavumenti egenda kumuwa ennyumba era n’abakozi 20 be bamuwadde gavumenti y’egenda okubasasula, emmotoka ezimukolera emirimu egy’enjawulo n’okumutambuza, okusasulira entambula ze ku nnyonyi ng’atambulira mu kifo ky’abakungu (First Class).
Omwezi oguwedde amagye gaawalirizza Mugabe okulekulira era Mnangagwa eyali omumyuka we gwe yali agobye n’akwata enkasi.
Wiiki eno Mnangagwa yalonze Chiwenga ku bumyuka era baamulayizza ku Lwokuna. Chiwenga yasoose kulekulira kifo kya buduumizi bw’amagye.
Bannamagye basatu abaakulira okuwamba gavumenti okuli Chiwenga, ow’eggye ly’omu bbanga, Perrance Shiri n’omwogezi Maj. Gen. Sibusiso Moyo bonna kati bali mu kabineeti ya Mnangagwa.
Shiri ye Minisita w’ebyettaka n’ebyobulimi ate Moyo ye minisita w’ensonga ez’ebweru n’ebyobusuubuzi era nabo baasooka kulekulira mu magye.
Kigambibwa nti Mugabe 93, yatwalibwa Singapore okujjanjabwa olw’obulwadde obuludde nga bumutawaanya nga yagenda ne mukyala we Grace Mugabe eyanyiiza amagye ne gasalawo okuwamba.
Emikutu gy’amawulire egimu e Zimbabwe gyabadde giraga nti Mugabe yakomyewo mu kimpoowooze ne mukyala we era bali mu maka gaabwe ‘Blue roof’ e Borrowdale mu kibuga ekikulu Harare.
Robert Mugabe bamuwadde akasiimo ka buwumbi 36 zimuyambeko okusigala ng’atambulira mu bulamu obutaliimu buyinike. Gavumenti ya Emmerson Mnangagwa, eyamuddira mu bigere yasazeewo okuwa Mugabe ssente obukadde bwa ddoola 10 (mu za Uganda obuwumbi 36 n’obukadde 278) ne bamugattirako emmotoka Benzi ssatu ez’ebbeeyi, ofiisi erimu buli kimu, abakuumi n’abakozi 20 okumuyamba ku mirimu. Gen. Constantino Chiwenga eyakulira abaawamba Mugabe, yabadde alayizibwa ku Lwokuna, n’ebirungi bye bagenda okuwa Mugabe ne byanjulwa era ne bikubwa mu lupapula lwa Gavumenti ya Zimbabwe oluyitibwa The Herald. Gavumenti egenda kumuwa ennyumba era n’abakozi 20 be bamuwadde gavumenti y’egenda okubasasula, emmotoka ezimukolera emirimu egy’enjawulo n’okumutambuza, okusasulira entambula ze ku nnyonyi ng’atambulira mu kifo ky’abakungu (First Class). Omwezi oguwedde amagye gaawalirizza Mugabe okulekulira era Mnangagwa eyali omumyuka we gwe yali agobye n’akwata enkasi. Wiiki eno Mnangagwa yalonze Chiwenga ku bumyuka era baamulayizza ku Lwokuna. Chiwenga yasoose kulekulira kifo kya buduumizi bw’amagye. Bannamagye basatu abaakulira okuwamba gavumenti okuli Chiwenga, ow’eggye ly’omu bbanga, Perrance Shiri n’omwogezi Maj. Gen. Sibusiso Moyo bonna kati bali mu kabineeti ya Mnangagwa. Shiri ye Minisita w’ebyettaka n’ebyobulimi ate Moyo ye minisita w’ensonga ez’ebweru n’ebyobusuubuzi era nabo baasooka kulekulira mu magye. Kigambibwa nti Mugabe 93, yatwalibwa Singapore okujjanjabwa olw’obulwadde obuludde nga bumutawaanya nga yagenda ne mukyala we Grace Mugabe eyanyiiza amagye ne gasalawo okuwamba. Emikutu gy’amawulire egimu e Zimbabwe gyabadde giraga nti Mugabe yakomyewo mu kimpoowooze ne mukyala we era bali mu maka gaabwe ‘Blue roof’ e Borrowdale mu kibuga ekikulu Harare.