TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abachina bafiiriddwa bya bukadde mu muliro ku Majesitc Plaza

Abachina bafiiriddwa bya bukadde mu muliro ku Majesitc Plaza

Added 1st January 2018

POLIISI yayitiddwa okutaasa ebintu by’Abachina ebyabadde biggyiira mu muliro ogwakutte sitoowa eziri ku kizimbe kya Majesitc Plaza mu Kampala.

 Abachina nga bataasa ebintu byabwe.

Abachina nga bataasa ebintu byabwe.

Ebintu byayidde mu kiro ekimalako omwaka ng’abantu bajaguza okuyingira omwaka ng’ate omuliro gusaanyawo emmaali y’Abachina.

Kigambibwa nti omuliro gwavudde ku masannyalaze nga zitoowa ezaayidde za kkampuni ya y’Abachina eya Landing Zone, eri ebintu ebibalirirwamu obukadde bye byasaanyewo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano, Luke Owoyesigire yagambye nti omuliro gwakutte sitoowa eziri mu mwaliiro ogwa waggulu nga sitoowa ezaayidde mwabaddemu gaalubindi n’amasaawa.

Yagambye nti poliisi yayanguye okutuuka n’etaasa ebintu okusaanawo kyokka ng’ebimu byabadde bimaze okuggya.

Yategeezezza nti obwangu poliisi bwe yakozesezza bwataasizza omuliro okusaasaanira ekizimbe kyonna.

N’agamba nti wadde bateebereza nti omuliro gwavudde ku masannyalaze kyokka bakyanoonyereza okuzuulira ekituufu okusobola okwewala omuliro okuddamu okukwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...