
Br Ronnie ng'abuulira mu kiro ekimalako omwaka
BRO.RONNIE Makabai owa Etm Church asabye abagoberezi ba Kristu okusaba ennyo omwaka guno ogwa 2018 Katonda awugule omuyaga gw'ebyobufuzi okuyinza okuvaako obutabanguko mu ggwanga ne mu mawanga amalala.
Bro. Ronnie ebigambo bino yabiyisizza mu bubaka bwe bweyawadde mu kusaba kw'okuyingira omwaka 2018 okwabadde ku Church ye eya Evangelical Truth ministries (Etm)esangibwa e Bwerenga Ku lwe Entebbe.
Br Ronnie ategeezezza nti amaze omwezi Mulamba mu kusaba nti naye Katonda amulaze amayengo g'ebyobufuzi mu mawanga mangi nga ne Uganda mweri nti n'olwekyo abantu basaana okwesabira ennyo wamu n'okusabira eggwanga lyaffe
Wakati mu nkuyanja y'abantu abeetabye mu kusaba kuno, Ronnie yakikkaatirizza nti nti tewali ngeri ndala yonna gye bayinza kuyitamu kutaasa butabanguko buyinza kubalukawo olw'embeera y'ebyobufuzi okuggyako okwekwasa Katonda n'okwenyigira mu kusabira ago gonna amawanga agayinza okufuna obutabanguko.
Omusajja wa Katonda ono Br Ronnie ajjukirwa nnyo olw'obunabbi bw'azze awa omuli okufa kwa Gadafi, ssaako ne Nelson Mandela,wabula nga kumulundi guno akubiriza abantu okwenyigira ennyo mu by'obulimi by'agambye nti by'ebyokka ebigenda okuggya eggwanga mu bwavu n'okulwanyisa enjala.
Ronnie mu ngeri yeemu asabye Gavumenti okufuba ennyo okutondawo enkolagana ennungi ne bannaddiini bagiyambeko mu kaweefube wookulwanyisa obwavu mu bantu