TOP

Bannamateeka batutte Gav't mu kkooti

Added 3rd January 2018

BANNAMATEEKA batutte gavumenti mu kkooti ya Ssemateeka olw’okuyisa amaaso mu ssiga eddamuzi ne baliwa ssente entono buli lwe basoma embaliririra y’eggwanga.

 Pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamateeka, Francis Gimara

Pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamateeka, Francis Gimara

Bya ALICE NAMUTEBI

Bano bayise mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Law Society ekikulemberwa Francis Gimara ne bagamba nti ejjoogo lya Gavumenti lisaana kkooti ebiyingiremu ebeeko ky'egamba kuba ssente ezibaweebwa buli mwaka gw’ebyensimbi ntono nnyo, ekintu ekiremesezza essiga eddamuzi  okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwalikwasibwa. 

Gimara agamba nti eggwanga likolebwa amasiga 3 omuli; Eddamuzi, Palamenti ne Kabineeti naye ssente eziweebwa Palamenti ne Kabinenti mu buli mbalirira zikubisaamu eziweebwa essigga eddamuzi ekintu ekitali kya bwenkanya. 

Bannamateeka balumirizza Palamenti ne Kabineeti okukotoggeranga essiga Eddamuzi n’okugaana okutuukiriza obuvunaanyzibwa bwabwe obw’okuyisa ebbago lya 'Judiciary Administration bill' lifuuke eteeka nabo basobole okwebegerako ku keeki y'eby'ensimbi nga amasiga  amalala bwe gakola. 

Gimara agamba nti buli mbalirira ya mwaka lw'esoma bongera kukendeeza ku mutemwa gw’essiga Eddamuzi ekibalemesezza okutuukiriza bye balina okukola era n'asaba kkooti eyise ekiragiro ku nsonga eno.

Asabye kkooti eyise kiragiro ekiragira Minisita w’eby'amateeka okwanja mu Palamenti ebbago lya Judiciary Administration mu mwezi gumu liteesebweko n’okuyimiriza Palamenti okukendeeza mu ssente ezigenda okuweebwa essiga Eddamuzi mu mbalirira y’omwaka guno nga bwe kiri mu kuteesebwako. 

Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde abalamuzi nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya UJOA beediima okumala wiiki bbiri nga bawakanya embeera embi mwe bakolera omuli; okusasulwa omusaala omutono n’obutakuzibwa.

 

 

Abalamuzi balalaika gavumenti nti singa tebongeza misaala bagenda kuddamu okwekalakaasa okutandiika n’omwezi gwa February 2018

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...